donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abaami ba Buganda basabiddwa okwongera okwenyigira mu mirimu gy'obwakabaka

Abaami ba Buganda basabiddwa okwongera okwenyigira mu mirimu gy'obwakabaka
Oweek. Joseph Kawuki ayogerako eri abaami ba Kabaka ku nsonga z’obwakabaka

Oweek. Joseph Kawuki ayogerako eri abaami ba Kabaka ku nsonga z’obwakabaka

Minisita w’eby’obwakabaka, okutambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda e bweru, Oweek. Joseph Kawuki, asabye Abaami ba Kabaka okukola emirimu gyabwe nga basinziira ku Nnamutaayiika — entandikwa y'okutambulizaawo obwakabaka.

Ng’ayogera ku Muganzirwazza mu kutendeka abaami b’eggombolola, abamyuka baabwe, n’abakiise okuva mu masaza ag’enjawulo mu Buganda, Oweek. Kawuki yakubirizza abaami bano okusigala nga bakoze ku mirimu, nga bwe beetegese okutuuka mu kiseera ky’ebyobufuzi ekijja. Yabasabye okwongera okukwasaganya enkola ya bulungibwansi, okutuuza enkiiko ebitundu byabwe buli olukya, era n’okubaako obudde bw’okuwummula okubayamba okwezza obuggya ku mirimu.

Oweek. Kawuki era yabakubirizza okukunga abantu okwenyigira mu kujaguza amazaalibwa ga Kabaka era n’okutumbula eby’okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya. Lipoota ziraga nti obulwadde buno buzzeemu okweriisa enkuuli mu masaza ga Masaka, Kalangala, ne Kyotera, ekizzeewo okutya mu Buganda.

Abaami ba Kabaka mu musomo ogw’okulambika enteekateeka z’obwakabaka

Abaami ba Kabaka mu musomo ogw’okulambika enteekateeka z’obwakabaka

Abamu ku baami ba ggombolola abetabye mu musomo guno baategeezezza nga bwe baguganyuddwa, nga bamaliridde okwongera okukwasa emirimu gy’obwakabaka. Baakakasizza nti bajja kwongera amaanyi mu nteekateeka ya Luwalo lwaffe, ekigendererwa ky’okutumbula enteekateeka n’okutegeka obwakabaka.

Okusisinkana kuno kwabawa omukisa ogw’okukyala ku mbuga enkulu ey'obwakabaka n'okubaako bye bayiga ku bakulembeze b’obwakabaka, ekyo nga bakiraba ng’ekitiibwa eky’amaanyi.

Okusisinkana kuno kwali kwa makulu kubanga abaami bano be bakozesa okutuusa enteekateeka z'obwakabaka mu bantu ne babakubiriza okuwagira emirimu gy’obwakabaka n’okutumbula eby’obulamu mu Buganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK