donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Wagira ensonga za Buganda UK

Waayo Leero Olw'ensonga Ennene

Okuwaayo kwo okuwagira emirimu gya Buganda UK kirabo kya muwendo, ekijja okukakasa nti abavubuka bawagirwa mu kitundu okwenyigira mu mirimu egy’omuwendo mu mbeera z’abantu n’ebyenfuna.

Ekirabo kyo kijja kuganyula naddala abavubuka abobulenzi n’abobuwala era kibasobozese okufuna emirimu egy’amakulu okweyimirizaawo n’amaka gaabwe n’okubawugula okuva mu makubo agakyama.

Ekirabo kyo era kijja kusobozesa abakadde mu kitundu okusigala nga beenyigira mu bitundu byabwe n’okubeewala okweyawula n’okubeera bokka. Obugabi bwo bukufuula ekitundu eky’omuwendo era ekikulu mu kitundu kyaffe. Weebale nyo.

Osobola okusalawo okuwaayo omulundi gumu oba okuwaayo buli mwezi.

Okuteekawo ekirabo buli mwezi y’engeri esinga okukola obulungi ey’okutuwagira.

  • Pawundi 5 omwezi zandisasudde omuvubuka okubeera n’okutendekebwa mu mirimu emirundi 12.
  • Pawundi 10 buli mwezi ziyinza okusasula abayizi babiri okugenda mu musomo gw’okugabula.
  • Pawundi 30 ziyinza okusobola okusasula ssente z’ebigezo by’omusomo ogukkirizibwa eri omuyizi omu.

Tukwasaganye Okuwaayo nga oyita mu Bank Transfer

Please fill the required field.
Please fill the required field.
Please fill the required field.
Please fill the required field.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK