Abakulembeze ba Kabaka mu Bendobendo lya East London, Essex, ne East Anglia
Bano be Baami ba Kabaka betukulembera nabo mu Bendobendo lya East London, Essex, ne East Anglia. Balina obukugu n’obusobozi obwenjawulo obutalabika mu kukunga abantu ba Kabaka abawangalira mu kitundu kyebakulembera. Bawereza n’essanyu, obwagazi, n’okwewaayo okw’enjawulo mu mirimu gyabwe.
Bamenye likodi bwe bategeka eky’eggulo kya Buganda (Buganda Dinner), eky’asinga okunyumira abantu bukya kitandika okutegekebwa mu Bungereza kati emyaka 8.
Okwewaayo n’obumu gwe mulamwa kwetutambulira mu bukulembeze bwaffe. Era tuli basaale mu kukola emirimu gya Mukama waffe, Omubaka Owek. Salongo Kibuuka, gy’atutumidde. Tweyama okuggya mu maaso n’obuweereza obulungi eri Obuganda.
Mu mwaka ogujja nga tegunatuuka wakati, tusuubira okutegeka omukolo omukulu kwe tugenda okwanjulira abemiruka abagenda okwegatta ku bukulembeze bwaffe. Tweyama okukunga abantu ba Kabaka bonna abawangalira mu Bendobendo lye tukulembera.
Olukiiko lw'e Bbendobendo lya East London, Essex, ne East Anglia
No. | Photo | Name | Title |
---|---|---|---|
1 | Mukungu Godfrey Ssekisonge | Sentebe / Mumyuka wa Mubaka | |
2 | Omuky. Justine Nakayenga Sserwadda | Mumyuka wa Sentebe / Muwandiisi | |
3 | Mw. Joseph Mary Muwonge | Muwanika | |
4 | Muky. Ritah Kyambadde | Mumyuka w'Omwanika | |
5 | Omuky. Max Nambi | Omumyuka w’Omuwandiisi | |
6 | Mw. Bob Fred Mpima | Oweby’Obuwangwa n’Ennono | |
7 | Mw. Tony Mukiibi | Ow’Abaami | |
8 | Mw. Mustafa Kazibwe | Omumyuka w’abaami | |
9 | Muky. Cate Kayiso Mulumba | Ow’Abakyala n’abaana | |
10 | Omuky. Sarah Najjuko | Mumyuka wa Ow’Abakyala n’abaana | |
11 | Miss Teopista Katende | Ow’Abavubuka | |
12 | Mw. Joseph Kibuka | Wa Mawulire | |
13 | Mw. Charles Lwanga Mugagga | Mumyuka wa Ow’Amawulire | |
14 | Mw. Peter Sekabira | Ow’Ebyokwekulakulanya | |
15 | Omuky. Jenny Nakagwa | Omumyuka w’Ebyenkulakulana | |
16 | Mw. Dr. Wilberforce Mubiru | Ow’Eby’Obulamu | |
17 | Omuky. Connie Nakaweesa | Ow’Embeera y’Abantu | |
18 | Muky. Betinah Kasujja Nsubuga | Memba |