donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Image

Buganda UK erimu abantu 20,000 aboogera Oluganda mu Bungereza ne Ireland. Oluganda lwe lulimi oluzaaliranwa olw’Abaganda - eggwanga erisinga obunene erisangibwa mu makkati n’obugwanjuba bwa Uganda era lwe lumu ku nnimi 50 ezisinga okwogerwa mu Bungereza.

Buganda mu Bungereza ekolebwa Abaganda ababeera mu Bungereza ne Ireland.

Buganda Bwakabaka obusangibwa mu Uganda mu East Africa. Obwakabaka bwa Buganda bulina ebyafaayo ebiwanvu era ebinene. Yagattibwa mu kyasa eky’ekkumi n’ena wansi wa kabaka eyasooka Kato Kintu era ne yeeyongera okukula wansi wa bakabaka abaddirira. Okubala abantu okwakolebwa mu mwaaka 2002, Baganda baali basukka mu bukadde 6.5 ate mu mwaaka 2011 we gwatuukira, babalirirwamu obukadde 8.4.

Buganda mu Bungereza n’olwekyo egatta Baganda n’emikwano gya Buganda mu Bungereza ne Ireland okujaguza obuwangwa bwabwe n’okukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK