
Wano nga ensisinkano egenda mu maaso.
sentebe w’enteekateeka era omumyuka w’Omubaka wa Kabaka mu Rhinelands, Muk. Linda Ssekayita, akulembeddemu banne mu nteekateeka nga basisinkana Minisita atwala ensonga za Buganda ebweru n’okulambula kwa Kabaka, Owek. Joseph Kawuki, ne bamwanjulira ebyo ebituukiddwako mu kiseera kino awamu n’ebisigaddeyo okulaba nga omwezi gwa Muzigo gutuukiddwaako nga enteekateeka zonna zijjiddwaako engalo.
Minisita Joseph Kawuki abalungamizza ku nsonga ezirina okussibwako essira mu nteekateeka, ng’agamba nti zirina okuwa ekifaananyi ekirungi era ekitibwa kya Buganda.
Yeebazizza n’enteekateeka ennungi eriwo mu kiseera kino, awamu n’okujja embuga okufuna okulungamizibwa okw’enjawulo.

Owek. Joseph Kawuki nga ali n’abaami ba Kabaka ng’olukiiko luwedde.
Ensisinkano yeetabiddwamu Owek. Samuel Ssekajugo Musoke, Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Rhinelands; Owek. Mugenyi Nelson, Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Sweden/Scandinavia; Mw. Frank Kyambadde okuva e Bugirimaani, era Omuwandiisi w’Olukiiko oluteekateeka Ttabamiruka; awamu ne Ssamula Robert, Omukwanaganya w’ensonga za Buganda ebweru.
Ttabamiruka wa Buganda Bumu European Convention 2026 wa kuyindira mu Bugirimaani, mu kibuga Berlin, mu mwezi gwa Muzigo.
