donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omumyuka w'omubaka wa kabaka e Bungereza ajaguzza olw'okulya obwami

Omumyuka w'omubaka wa kabaka e Bungereza ajaguzza olw'okulya obwami
Image

Omukungu. Jannat Nabatta Mukiibi wakati mu kyambalo ky'olukiiko

Mky. Jannat Nabatta Mukiibi ajaguzza olw'okulondebwa okuba Omumyuka w'Omubaka wa Kabaka e Bungereza, ne yeeyama obutatiiririra Kabaka, n'aasaba Obuganda okumukwasizaako.

Omukolo gubadde Naama, mu Gombolola ya Mumyuka Busimbi, e Ssingo, ng'Oweek. Joseph Kawuki y'abadde omugenyi omukulu.

Oweek. Kawuki akuutidde Muky. Mukiibi okutuusanga amawulire g'Obwakabaka ku bantu baakulembera mu ngeri ey'olutentezi, kibawonye okutambulira ku byanjwanjwa.

Akubirizza abazadde okunnyikiza abaana baabwe mu lulimi n'obuwangwa bwabwe, mu kifo ky'okusoosoowaza enimi engwira, so nga n'e Bulaaya eriyo abazadde abakikoze obulungi.

Asabye abantu okubaako n'ettoffaali lye bassa ku Bwakabaka mu ngeri ez'enjawulo.

Omulabirizi wa Mityana Dr. James Bukomeko Ssaalongo, akubirizza abantu okwewala okukoppa Abazungu kuba kati baafuuka bagwenyufu.

Mukwenda David Nantaggya, asabye omujaguza obuteerabira gy'asibuka ne wankubadde ng'ali Bulaaya, ate n'okusakira essaza lye.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK