
Owek. Katikkiro nga atongoza amakubo g’abaddusi
Kampala – Maapu egenda okulambika amakubo ag’omutindo ag’emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi ogwa 70 ettongozeddwa mu butongole. Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, y’atongozza maapu eno eraga amakubo ga kiromita 21, 10 ne 5 nga bwe galambikiddwa abakulu b’ekibuga ne Poliisi y’eggwanga.
Mu kutongoza enteekateeka eno, Ssenkulu wa KCCA, Omuky. Sharifah Buzeki, yasabye Katikkiro okuwagira kaweefube w’okukuuma Kampala nga kiyonjo. Yagumizza Buganda nti KCCA egenda kukolagana n’Obwakabaka okutumbula eby’obulamu n’okukwasizaako mu mulamwa Kabaka Muwenda Mutebi II gwe yasimbako essira—okukuuma abawala abato obutakwatibwa mukenenya.
Obwakabaka ne KCCA beegasse ku kibuga ekiyonjo
Owek. Mayiga yagumizza Ssenkulu wa KCCA nti Obwakabaka buwagira bujjuvu kaweefube wabwe, era n’akubiriza abantu okutwala obuyonjo nga ky’omugaso eri obulamu bwabwe.
"Okukuuma ekibuga nga kiyonjo si mulamwa gwa gavumenti yokka; buli muntu alina obuvunaanyizibwa. Kampala ennyonjo egasa Buganda yonna," Katikkiro Mayiga bwe yategeezezza.
Owek. Kamalabyonna yannyonnyodde nti ebikujjuko by’amazaalibwa ga Kabaka bikuuma essira ku bulamu, era n’agattako nti mu 2030, mukenenya aliba ky’amazze. Obwakabaka bwasabye abasajja babeere ba buvunaanyizibwa mu kutaasa, mu kwekebeza, n’okutangira mukenenya.

Nankulu wa KCCA nga atuusa obubaka bwe eri Katikkiro
Enteekateeka y’Empaka n’Obukuumi
Oweek. Twaha Kaawaase Kigongo, Omumyuka wa Katikkiro era ssentebe w’olukiiko olutegesi lw’emisinde, yebazizza KCCA olw’okukwatagana n’Obwakabaka.
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga Ssalongo, yagumizza abaddusi nti waliwo enteekateeka ezikakali ez’okubakwatirako, omuli:
✅ Abalagirira abaddusi ku makubo
✅ Ebitundu awali amazzi g’okunywa
✅ Obukuumi obugenda okukakibwa
✅ Ambulance ez’okudduukirira abajjanjabibwa
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya kuddukibwa ku Sande, 6/04/2025 mu Lubiri e Mmengo.