donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omupiira gw'Amasaza.

Ssaabasajja Kabaka asiimye Omupiira gw'empaka z'Amasaza ogw'akamalirizo guzannyibwe nga 4 March, 2023, mu kisaawe e Wankulukuku, wakati wa Buddu ne Busiro. So nga ebika bya 11 March, 2023, wakati w'Olugave n'Endiga, abasajja, ate abakazi Engeye n'Emmamba Gabunga. Obuganda bujja kuyingirira ku 10,000/=, ne 20,000/= ku mipiira gyombi.

Bino birangiriddwa Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu, Minisita w''Abavubuka, Emizannyo n'Okwewummuza, mu lukungaana lwa bannamawulire, olubadde ku Bulange, enkya ya leero.




Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK