donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omukubiriza W'olukiiko Lw'abataka Asabye Abantu Okunyweza Omusingi Gw'ensibuko Yaabwe

Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka ab'Obusolya, Omutaka Augustine Kizito Mutumba, akubirizza abantu okwettanira ensonga z'Obuwangwa bwabwe, banyweze omusingi gw'ensibuko yaabwe. 

Bino abyogeredde Kyabakadde, mu kwabya olumbe lwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, gw'oyogeddeko ng'ekyokulabirako eky'Omukulisitu Omuganda ajjudde. 

Katikkiro w'ekika ky'Emmamba, Joseph Luyombo Mulindwa, atenderezza obuwagizi bw'omugenzi eri ekika, era yali omu ku bayima b'ekika ky'Emmamba. Omugenzi asikiddwa Silvester Wamala Nsubuga.

Article_3_Image_2.jpg

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK