donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okutumbula Ebyobulamu Mu Buganda

Okutumbula Ebyobulamu Mu Buganda

Obwakabaka busse omukago ne Buladde Medical Research Institute, abanoonyereza ku ndwadde ez’enjawulo. Bano bagenda kuzimba ekkeberezo (Laboratory) ery’endwadde ez’enjawulo, nga likozesa tekinologiya ow’omulembe, e Kasangati.

Ku lw’Obwakabaka, Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma, yassizza omukono ku ndagaano, ate Dr. Ruth Kizza Bohlins Mabikke n’assaako ku lwa Buladde.

Katikkiro yajulidde enteekateeka eno n’akubirizza abantu okujjumbira okwekebeza mu malwaliro, bafune obujjanjabi obutuufu, okusinga okwejjanjaba kye batekebezza.

Oweek Nankindu, awabudde ku kwekebeza nti tekisaana kulinda kulwala, wabula akadde konna. Prof. Moses Joloba Lutaakome, asuubizza obuweereza obulungi eri abantu olw’obumanyirivu bwe balina.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK