donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro Atongozza Kaweefube Wa Mmwanyi Terimba Omwaka 2023.

Kaweefube ono amutongolezza Masuuliita mu Busiro, oluvannyuma lw’okulambula abalimi, n’akkaatiriza nti omwaka guno, Obwakabaka bwa kussa essira ku: Bwegassi; Okunywa kaawa; Abakyala n’Abavubuka, n’okutumbula ennima ey’omulembe.

Oweek Hajjat Mariam Mayanja, akubirizza abakyala okwenyigira mu bibiina by’obwegassi baganyulwe mu nteekateeka z’Obwakabaka, balwanyise obwavu. Asabye n’abantu okusimba emiti okutaasa obutondebwensi.

Oweek. Haji Amis Kakomo, assuubizza okwongera okutwala kaweefube wa Mmwanyi Terimba mu maaso, obutaddirira.

Prof. Julius Zzaake kulwa Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF, agambye nti ettaka likaddiye nnyo n’akubiriza abantu okuliriikiriza, okusobola okulifunamu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK