donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro Asabye Abazadde Okuyigiriza Abaana Obulimi

Katikkiro akubirizza abazadde okuyigriza abaana omulimi gw’okulima, nga bagussaamu ekitiibwa ng’emirimu emirala. Asabye n’abantu okwejjamu endowooza ey’okutwala obulimi nga eby’obugubi.

Bino abyogeredde ku nnimiro Nelson Kalyango Kaseenene, ow’e Namayumba Kisenyi. Nelson musajja aliko obulemu kyokka mulimi ow’amaanyi.

Katikkiro amusiimye olw’obuteekubagiza, neyeerwanako era ne yeeyimirizaawo. Akikkaatirizza nti obulemu bw’amagulu, tebulemaza bwongo.

Kalyango, agambye nti balina essuubi ery’okutandika ekirabo kya kaawa, okusikiriza abantu okumunywa.


Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK