
Oweek Ssalongo Geoffrey Kibuuka nga atongoza enkozesa y'Olubugo mu Bungereza ne Ireland
Omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland Oweek. Ssalongo Geoffrey Kibuuka yakulembeddemu okutongoza mu butongole enkozesa y'Olubugo mu Bungereza ne Ireland ku mukolo ogwategekeddwa Omwami Pauline Najjuma owa Rap and Sons Ltd nga bakolagana ne T. Cribbs Funeral Directors.
Omukolo ogwabaddewo ku Lwomukaaga nga 22nd March 2025 gwabaddemu abakungu ba Buganda, abakulembeze b’eddiini n’ebyobuwangwa.
Mu kutongoza, aboogezi balaze emigaso gy’olubugo era ebintu eby’enjawulo ne byolesebwa, okwongera okutumbula obuwangwa bwa Buganda.

Abamu ku bagenyi abaabadde ku mukolo
