Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Obubaka bw'Omubaka - Buganda Dinner (UK) 2023

Obubaka bw'Omubaka - Buganda Dinner (UK) 2023
Image

Mbalamusizza nnyo abantu ba Ssaabasajja, mikwano gya Buganda, ne mikwano gyammwe era mbebaza emirimu, mbebaza nnyo okufissa akadde nemujja ku Kyeggulo kya Buganda eky’omwaka guno. Nyongera okubeebaza okuwagira enteekateeka z’essaza lyaffe lino ate ne nyaffe Buganda, temujjang’okwo.

Tusaasira bannaffe abayise mu bizibu eby’engeri ezitali zimu omwaaka guno naddala abo abalwazizza, n’abafiiriddwa abantu baabwe, tusaba Katonda abayise mu mbeera zino. Tusanyukira wamu naabo abatuuse ku birungi omwaaka guno era tubayozaayoza nnyo.

Twaniriza mungeri ey’enjawulo Oweekitiibwa Ronald Lutaaya, abakungu n’abaami ba Ssaabasajja bonna abali wano n’abataliiwo abawummula olw’omulimu omunene ogukoleddwa mu Ssaza lyaffe. Tweyama okwongera okukola emirimu gy’okutwaala mu maaso e Ssaza lyaffe n’oBuganda, nga tukola obutaweera okukuuma n’okunyweeza Nnamulondo.

Nyongera okuyozayoza abakungu n’abaami abaalengerwa ne basiimibwa Ssaabasajja okuweereza mu Ssaza lyaffe lino erya UK ne Ireland. Kino kya ttendo nnyo naye ate buvunanyizibwa bwetutekeddwa okufuba okutuukiriza, anti bagamba nti alya obwaami...

Twebaza ne sekwebaza e Bbendobendo lya East London, Anglia and Essex erikulemberwa Omukungu Godfrey Sekisonge n’abaami bonna baakoze nabo omulimu ogw’ettendo ogw’okutegekera ekijjulo kino. Twebaza n’abakungu bonna abakwatidde awamu ne East London, Anglia and Essex okulaba nga omukolo guno gutambula bulungi.

Mbajjukiza mwenna abantu ba Ssabasajja, okujjumbira omulamwa gw’eSsaza lyaffe ‘Ogw’obumu n’okwekulakulanya’, nga guno gwasimbulizibwa mu ssemasonga ettaano Buganda kw’etambulira. Nga tuyita mu mulamwa gwaffe guno, tusuubira okukola ku nsonga omuli;

1. Okukunga abavubuka bongere okwettanira oBuganda n’okwekulakulanya, n’abaana okwongera okunnyikiza olulimi n’okubaagazisa eggwanga lyabwe.

2. Okuyimiriranga n’okuyambanga bannaffe abayita mu bizibu n’obuyinike obutali bumu; ng’obalwadde, okufiirwa, n’abayita mu kiwuubaalo (loneliness).

3. Okutema empeenda okuleetawo okwekulakulanya mu bantu ba Ssabasajja mu ngeri zonna nga mu byenfuna, eby’obulamu n’embeera z’abantu (welfare).

Mu kiseera kino omulimu gwokutuukiiza ebyogeddwaako waggulu gwatandika dda era abakungu abakulembedde enteekateeka zino bawandiise ebigendererwa mu katabo kaffe byetusaba musome era mwetegereze n’oluvanyuma muwe ebirowoozo byammwe mukole okusalawo ku nsonga ezo zetusuubira nti zakutuyamba nnyo okutuukiriza omulamwa gw’obumu n’okwekulakulanya. Enkola zino zijja kuyita mu bibiina bino wammanga:

· Buganda Bereavement Fund

· Buganda Twezimbe UK

Tubagaliza omukolo omulungi, ennaku ezokuwummula ezijjudde emirembe n’e ssanyu, no’mwaka omujja 2024 ogujjudde ebibala ebirungi.

Sssabasajja Kakaba Awangaale

Ssaalongo Geofrey Kibuuka

(Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland)

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK