donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obubaka bwa Ttabamiruka 2024

Obubaka bwa Ttabamiruka 2024
Image

Nina essanyu lingi nnyo okubaaniriza mu Ttabamiruka waffe ono asookedde ddala ku ssemazinga ono owa Bulaaya agatta amasaza gaffe asatu erya Scandanavia, Rhinelands ne Bungereza ne Republic ya Ireland. Ddala luno lunaku lwa byafaayo mu Ssaza lya Ssaabasajja lino ne ku ssemazinga ono okuba nga tukyaziza abagenyi abangi bwe bati omuli n'ab'ebitiibwa abangi bwe bati. Omukolo bwe guti tegubangawo bukya lubanga lwa mmindi.

Twaniriza n'essanyu lingi nnyo Katikkiro wa Buganda, Ow'ekitiibwa Charles Peter Mayiga, omumyuka wa Katikki­ ro owookubiri Ow'ekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu ,Okulambula kwa Ka­ baka n'Enso ga z'Abantu ba Buganda Ebweru Ow'ekitiib­ wa Joseph Kawuki. Era twaniriza ne ba Minisita Ow'ek Haji Amis Kakomo; Ow'ekitiibwa Isreal Kitooke Kazibwe; Ow'ekitiibwa Robert Sserwanga n'Ow'ekitiibwa Anthony Wamala abatindizze okujja okwetaba mu Ttabamiruka ono.

Twongera okwaniriza Bajjajjaffe Abataka Abakulu ab'O­ busolya, ab'ebitiibwa Abaami b'Amasaza, Abakungu abat­ wala ebitongole, Abaami abaweereza ku mitendera egy'enjawulo n'abantu ba Ssaabasajja mmwenna abavudde mu bifo eby'enjawulo mu nsi yonna.

Twaniriza nnyo bannaffe okuva mu Tooro Community mu UK; Bunyoro Community mu UK; Acholi / Luo Community mu UK ne Banyakigezi abawangaalira mu UK
Ntwala omukisa guno okwaniriza n'okwebaza ennyo abee tabye mu kuteekateeka omukolo guno, Ow'ekitiibwa Ne son Mugenyi, Ow'ekitiibwa Samuel Ssekajugo, Abakung n'Abaami ba Ssaabasajja abeenyigidde mu mulimu gun okuva mu masaza gaffe gonsantule agali ku ssemazinga w Bulaaya. Bannaffe mwebale nnyo mwebalire ddala.

Ttabamiruka ono asoose mu Bulaaya ateekedwateekedw wansi w'omulamwa "Tekinologiya mu Kutumbula Obumu Enkulaakulana, Ennono, Obuwangwa n'Abavubuka". Jj twafunye omukisa okuba nga twabanguddwa abakug ab'enjawulo n'okukubaganya ebirowoozo okulaba enge gye tuyinza okukozesa Tekinologiya okwekulaakulany; okuleeta obumu, okukuza obuwangwa bwaffe n'enkoze y'emikutu mugattabantu (social media) obulungi okwongera okukunga abantu okubeera obumu.

Abavubuka nabo tebalutimidde mwana era bali rr eetereekerero ng'olunaku lw'enkya bagenda kutuu kutema empenda okulaba engeri gye bayin, kutumbula omutindo gw'ebitone byabwe eby'enjawu 'okubikozesa okwekulaakulanya, okuleeta oburr 'okwongera okunyweza ennono mu nsi eno eyita rr kyukakyuka ezijjira ku misinde egya yiriyiri.

Mu ngeri y'emu abavubuka bajja kufuna okulambikibv okuva eri Ow'ekitiibwa Katikkiro ne Minister w'Abavubul okubabuulira ku mikisa gy'okusiga ensimbi egiri ku butal n'obukugu obwetaagibwa mu kukuza nnyaffe Buganda r Uganda. Era bajja kufuna omukisa nabo okuv ebirowoozo byabwe n'okubuuza ebibuuzo ebibakwatakc

Nga tuzze wano mu ssaza lyaffe erya Bungereza ne Republic ya Ireland, essira tulisimbye ku bumu na kwekulaakulanya era gwe mulamwa gwaffe. Tutemye era nga tukyatema empenda okulaba nga tutuukiriza omulamwa guno. Bino wammanga bye bikoleddwa:

  • Tutadde amaanyi mu kulaba nga abaana baffe naddala, abazaaliddwa kuno bongera okumanyigana, bayambangana mu kwekulaakulanya naddala mu kufuna emirimu, okuggulawo "businesses" n'okwenyweza; okuyiga n'okunyweza obuwangwa n'enonno ku zaabwe mulembe guno ogw'abavubuka. Tukoze emisomo egy'eby'emirimu n'okwezimba era tukyagenda mu maaso n'enkola eno.

  • Tugunjizzaawo ekibiina kya Twezimbe abantu ba Ss; basajja mwe banaasobola okusiga ensimbi. Ate n ssente ezinaaba zisondeddwa zijja kusigibwa mu bir ebikulaakulanya n'okutumbula embeera z'abar b'essaza lyaffe.

  • Buganda Bereavement Fund (BBF), etongozeddwa waleero. Kino kye kibiina ekigunjiddwaawo okukum kuma, okuwa obuyambi n'okuzzaayo bannaffe ababa bafiirid­ de kuno baziikibwe ku butaka (okwo bwe kuba nga kwe kwali okusalawo kwabwe oba okw'abenganda zaabwe). Buli muntu wa Ssaabasajja akubirizibwa okwegatta ku kibiina kino. Ebisingawo biri bu bupapula (leaflets) obufulumiziddwa.

  • Okubudaabuda n'okubeesabeesa bannaffe abayita mu buyinike n'ekiwuubaalo. Kino tukikola nga tuyita mu bibiina byaffe ng'eky'abakyala; eky'abaami n'ekya Wel­ fare. Tusaba abantu ba Ssaabasajja okutuukirira Aba­ kungu n'Abaami abakola ku nsonga zino buli lwe wa­ baawo obwetaavu.

Mpunzika nga nyongera okwebaza abagenyi baffe naddala abavudde ebweru w'Essaza lino okujja okwetaba mu Ttabamiruka ono ow'ebyafaayo. Twebaza nnyo nnyini Ow'ekitiibwa Katikkiro, ba Minisita, Abakungu n'Abaami okutufisizaawo obudde ne mubeera naffe ku mukolo guno. Era nyongera okwebaza abantu ba Ssaabasajja ne mikwano gya Buganda mmwenna abazze ku mukolo guno.

Twebaza abatusomesezza n'abatulambise. Twebaza n abavujjirizi baffe okuyimiriranga naffe bulijjo. Bannaffe mwebale nnyo era temuggyanga okwo.
Naye okusingira ddala njagala okwebaza Ab'ebitiibwa,Abakungu n'Abaami abakoze obutaweera okulaba omukolo guno gubeerawo.

Ttabamiruka ono atandikidde mu Ssaza lyaffe lino ku mulundi guno wa kubeerangawo buli luvannyuma lwa myaka ebiri era tujja kutegeezebwa Essaza eriddako okutukyaza

Ssaabasajja Kabaka Awangaale

Ssaalongo Geoffrey Kibuuka
Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK