Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Buganda Dinner Foreword 2017

omubaka ronald lutaaya 

Buganda Dinner Foreword 2017

Abaami nabakyala, ndi musanyufu okubaniriza nate ku Semajjulo wa Buganda kwetujjukirira abazira wano e London mu saza Kabaka lyeyankwasa erya United Kingdom ne Republic of Ireland. Ekijjulo kino twakitandika mu 2015, kibeerawo buli mwaka era yemu kungeri gyetulabagana ne banaffe nga tebanagenda mu luwumula lwa Ssekukulu tusobole okufundikira omwaka ffena awamu abaana b’enda ya Nakalaama ne mikwano gyaffe.

Ku mulundi guno tulina omukisa okwaniriza Omulangira Crispin Jjunju Suuna Kiwewa n’omumyuka wa Katikkiro Ow’ekitiibwa Emmanuel Ssendaula – Omuteregga yassimye tubeere nabo ku mukolo guno. Tweyanziza nnyo Magulunnyondo. Omutwe gwekijjulo kyomwaka 2017 twakiyise ‘Celebrating our own’ Okwenyumiririza mu bantu baffe abawangaliira mu UK ne Ireland olw’ebyo byebakolede Obuganda eno gyebabeera.

Omwaka ogwa 2017 Omubaka essira alitade ku kuzimba obumu; yensonga lwaki twatandikawo ebigango ne Bulungi bwansi mu saza lino. Mu kigango tuyigiramu ebikwata ku Buganda era Omubaka ayanjula ebigenda ebifa mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange e Mengo. Bulungi bwansi omulamwa kwe kutumbula n’okuganjawaza obwa nnakyewa.

Era bwetutyo twalina ekigango mu mwezi gwa Mukutulansanja (February) e Beckton – East London, e Kkanisa yaba Seventh Day Adventists yeyatukyaza, abantu bali bangi, abogezi mwalimu Omubaka wa Ssaabasajja, Sheik Kalantane, Father Balinnya, Mukungu Lakeeri Nabude, Mw. Nkata, Pastor Kalemeera, Mohamed Kakyama Mayanja, ne Mukungu Lawrence Muyimba. Ekigango kyateesa ku kibuuzo ekigamba nti Ennono n’Eddiini bikontana? Twakirizaganya nti tewali kukontana wabula abataputa bebaleeta (naddala abakoloni) ebizibu.

Mu mwezi gwa Ssebo Aseka (June) 2017 twalina ekigango mu Bendobendo lya North London, obutambi bw’omukolo guno bwatambula nnyo. (Kebera ku website yaffe wejjukanye). Mwalimu Omubaka, Mukungu Mukiibi n’Abakungu bonna, twayogera ku nsigo y’enkulakulana n’abavubuka.

Mu summer eno 2017, Mukungu Kiyaga owe Manchester n’akakiiko k’ebendobendo baakyaza abe London ne choir ya Okusinza mu Luganda e Waterloo, omukolo gwali gwamaanyi era gwetabibwamu abantu bangi nnyo.

Mu Kasabula (July) 2017 Omukungu wa South London Kasim Muguluma n’akakiiko basaba Omubaka okutongoza akakiiko k’ebendobendo, baategeka ekigango ku Kanisa e Thornton Heath, era kino kye kigango ekikyasinze obunene omwaka guno. Omubaka yayogera kunkuza yabavubuka nokubagazisa Buganda nga tubatekamu ‘software wa Baganda’ baleme kukula muwawa. Omubaka yaggumiza nti Abaganda tubeere bulindala okulwanirira enda ya Nakalaama, tusobole okukuma Namulondo. Okwo yagatako nti enkola egya okutusobozesa okutuuka kubino yenkola ya Federo; eyo yesobola okukuuma ebyaffe – kubanga ebirala ebibadewo okuva mu 1967 bitulaze mbeera za banyazi, abali b’enguzi, bwa naakyemalira byetulaba mu nsi yaffe songa tebiyambye Buganda wade Uganda.

Nnebaza abakulu bamakanisa, emizigitti, kelezia ne mwenna abawagidde Obuganda mungeri emu oba endala omwaka gwetulimu 2017. Nnebaza n’abakyala abayanukula omulanga ne bawoma omutwe mu nsonga ya Bulungi bwa nsi okuva lwenagyanjula mu lukiiko wano mu saza lya United Kingdom ne Republic of Ireland. Nebaza abantu mwenna abayanukula omulanga gwa bulungi bwa nsi, bannaffe mwebale omulimu gwemukola gwattendo, tusaba n’abalala mubegateko. Bulungi bwansi alimu okulambula banaffe abanafuye olwemyaka oba obulwade.

Nga tutunula mumaaso omwaka 2018 tugya kwongera okugaziya emirimu gino gyona, wamu nabino wamanga:

  1. Okusomesa abantu baffe enkola ya Federo gyetulina okutondawo mu Uganda yonna
  2. Okukolagana n’abazade, ebibiina bya Baganda, amasinzizo - okubangula abaana mu by’okwerinda nga tukozesa obuwangwa n’ennono wamu n’empisa z’Abaganda.
  3. Tugya kugaziya okutegeera mu by’enkulakulana, tutumbule eby’ensimbi n’okusiga ensigo wano n’eBuganda – ngatuyita mungeri y’obwegassi.
  4. Okukola kawefube okuyamba essomero eryo mukyaalo mu Buganda.

Nga maliriza njagala okubajjukiza nti ebirowoozo byammwe Omubaka yetaaga okubiwulira. Mbasaba mukolagane n’Abakungu mu bitundu byammwe/bendobendo (amannya gabwe nempulizaganya kwebiri ku website yaffe: www.Bugandauk.com).

Nnebaza Abakungu n’Akakiiko akanyambye okutegeka omukolo guno. Mbagaliza mwenna ekijjulo ekirungi, Ssekukuklu ey’esanyu, n’Omwaka omugya ogw’obuwanguzi, Buganda ewangule n’abalabe baffe Katonda abazibe amaaso.

Awangaale Omuteregga

Ronald Fredrick Luyinda Lutaaya
Omubaka wa Kabaka United Kingdom & Republic of Ireland

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK