Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Katikkiro's Speech

Katikkiro's Speech

 

OKWOGERA KWA KATIKKIRO MU LUTUULA LW’OLUKIIKO LWA BUGANDA, BULANGE, 16 MUKULUKUSABITUNGOTUNGO, 2017

OKWANIRIZA:

Mbaanirizza mwenna abazze mu Lukiiko lwaffe olukulembera olusembayo mu mwaka guno. Mbeebaza emirimu gyemukoze, egyammwe ate n’egya Buganda.

Nkulisa bonna abaliko obuwanguzi bwe batuuseeko; ate ne nsaasira bonna abasanze obuzibu.


SSAABASAJJA KABAKA:

Ssaabasajja gya’Ii mu Lubiri lwe alamula Obuganda, era antumye okubalaba, nga abeebaza gyonna gye mukola nga tufuba okuza Eggwanga lyaffe ku ntikko.

Okuva lwetwali wano nga 21 Muwakanya, 2017 Omutanda alabiseeko eri Obuganda:

Nga atuggalirawo Omupiira gw’Amasaza mu lusamba olwali e Namboole nga 26, Muwakanya, 2017. Nkulisa nnyo Bannaggomba olw’okusitukira mu kikopo ky’omwaka guno. Bannassingo nabo mbakulisa okutwala ekifo eky’okubiri, ate ne Bannabuddu eky’okusatu.

Waliwo ensonga bbiri ze njagala nnokoleyo ku nsonga z’omuzannyo gw’omupiira. Esooka, nkubiriza abawagizi b’omupiira okwewala effujjo (okweyiwa mu kisaawe nga ggoolo ziteebeddwa, oba nga abawagizi bawakanya ennamula y’omufuuyi wa ffirimbi; okulwana; okuwemula; n’ettamiiro).

Ensonga ey’okubiri y’ey’obuvujjirizi, naddala obwa bantu ba ssekinnoomu. Ttiimu ezituuka waggulu zitera okufuna abantu ab’enjawulo abasuubiza abazannyi ebirabo eby’enjawulo singa baba bawangudde. Kino kirungi, naye kisaana kukolebwa kuviira ddala ku ntandikwa y’olusamba. Abazannyi bwe basuubizibwa ebirabo ebingi ng’ebula nnaku bunaku olusamba olw’akamalirizo lubeerewo, ekiddako kufuna kiwuggwe, bwe batyo ne balemwa ate okusamba obulungi. Bonna abawagizi b’omupiira basaana okugenderera nnyo ensonga eno.

Nga 3 Mutunda, 2017 nga atuggalirawo omwaka gw’obulambuzi n’okutuggulirawo omuggya mu Lubiri e Mengo. Beene yatukuutira okutaasa n’okukuuma obutonde bw’ensi , mu nteekateeka zonna ez’obulambuzi ezikolebwa.
Nga 25 Mutunda yantikka obubaka obuyozaayoza Owek. Arthur Bagunywa okuweza emyaka 90 , ate n’okumusiima olw’obuweereza bwe obulungi eri Buganda, Uganda n’ensi yonna.
Nga 7 ne 8 Mukulukusabitungotungo Omuteregga yalabise eri Obuganda, nga tujjukira Ameefuga ga Buganda. Ameefuga tugajjukira tukola emirimu gya Bulungi bwa Nsi, egyatandikibwa bajjajjaffe, olw’okwagala okukuza Obwakabaka. Sseggwanga yatukubirizza okwettanira okuwuliziganya n’okuteesa, kitusobozese okutuukiriza emirimu gyaffe. Yatujjukiza nti bwetukola emirimu gya Bulungi bwa Nsi tuyiga okukolera awamu n’okwekulaakulanya. Yatukuutidde ku nsonga z’obuyonjo (naddala mu Kampala nga buli maka gabeera ne kabuyonjo).

Namunswa yasiimye abantu be abaatoola Ettoffaali eryeyambisa okukola emirimu gy’Obwakabaka egirabikako.

Nnnebaza nnyo Bannakyaddondwa, ne Bannakampala bonna okutwalira awamu, olw’okwaniriza Nnyinimu mu ssanyu n’ekitiibwa.

Kati tusuubira Kitaffe okulabikako eri Obuganda nga tukuza Olunaku lw’Abavubuka mu Kyaggwe nga 10 Museenene; ate ne mu lusamba olw’akamalirizo olw’omupiira gw’Ebika wakati w’Ente n’Effumbe nga 25 Museenene e Bulemeezi.

Nkubiriza Bannakyaggwe ne Bannabulemeezi okwaniriza Cuucu mu ngeri eweesa Eggwanga lyaffe ekitiibwa.

KATIKKIRO:

Emirimu egiwerako gikoleddwa kasookedde tuva wano ,naye kankooneko mitonotono;

Luwalo Lwaffe: nneebaza nnyo Amagobolola ag’enjawulo agakiika wano ku mbuga mu Bulange, nga gatuukiriza Oluwalo lwago. Nnasobola okutikkula Amagombolola okuva e Bugerere; Kkooki; Kyaggwe n’amalala. Ate Baminisita aba’enjawulo nabo batikkudde.

Kizzaamu amaaanyi okulaba nti Omuganda akitegeera nti y’alina okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka; era n’okukitegeera nti Kabaka ayitibwa Nnamunswa, ekitegeeza nti ffe tulina okumuliikiriza.

Nnayitibwa Minisitule ekola ku by’obuwangwa eya gavumenti eya wakati okuggalawo emizannyo egy’oleka obuwangwa n’ennono egy’amawanga ageegattira mu mukago gwa Afirika ey’obuvanjuba. Bannaffe abava mu nsi eziva mu mukago ogwo baabalamusa nnyo.
Olusirika lw’Abavubuka: Abavubuka baabadde n’olusirika (13 – 14 Mukulukusabitungotungo) , ku mulamwa gw’obukulembeze e Mukono, era nnaluggulawo, ate Omul. Wassajja Kintu n’aluggalawo. Abavubuka baakubiriziddwa bulijjo okufuba okwetegereza ensonga nga tebannabako bye basalawo; okufunayo abakulemebeze abalambulukufu kwe bayigira ensonga z’obukulemebeze; okubeera abayiiya; era bulijjo okunyiikirira okutegeera obuwangwa bwaffe.
Nnayitibwa Ssaabasumba Paul Bakyenga ow’e Mbarara okwetaba n’Abakirisitu abeegattira mu kibiina ekigatta ababeera e Kamapala mu kusoma Mmisa eyali e Kittante Primary School nga 27 Muwakanya. Bantegeeza nti beeenyumiririza nnyo mu bukulemebeze bwa Kabaka Mutebi II.


OKUFIIRWA:

Omumbejja Beatrice Muggale, omwana wa Ssekabaka Daudi Chwa yaseerera nga 8 Mutunda; n’aterekebwa mu Masiro e Kasubi nga 13 Mutunda, 2017.
Omubaka w’Olukiiko, Husseein Kato Galiwango, abadde akiikirira Abaganda abaasenga mu Bugisu, eyafa nga 30 Muwakanya, 2017.
Omutaka Nsamba yozefu Kamoga (Omukulu w’Ekika ky’Engabi Ensamba). Yaziikibwa ku butaka e Buwanda nga 14 Mutunda, 2017.
Vincent Nsamba (kitaawe w’omubaka wa palamenti Mathias Mpuuga) eyaziikibwa e Nakawanga mu Buddu nga 1 Mukulukusabitungotungo, 2017.
Paulo Bukenya Sseguya (mwannyina wa Nnaal. Elizabeth Nakabiri) eyaziikiddwa e Mawagga mu Ssingo nga 11 Mukulukusabitungotungo.

(tuyimirire eddakiika nga tujjukira abagenzi)

Gwatusinga nnyo Ssaabasajja!

OBUKULEMBEZE MU BIKA:

EKY’ENVUBU:

Omutaka Nsikoteyomba yawawaabira Omut. Emanuel Makaabugo Musoke, nga amuvunaana okulya ensowole obukulu bw’Ekika ky’Envubu. Eddiiro lya Katikkiro lyagusalira Makaabugo Musoke; awo ye n’ajulira ewa Ssaabasajja.

Ssaabasajja bwe yamala okwetegereza ensonga fayiro y’omusango yagiddiza Katikkiro, nga assizaako ebiragiro Embuga ya Kisekwa ebeeko ensonga ssatu z’eba eddamu okwekkaanya.

Embuga ya Kisekwa bweyaddamu okuzekkaanya yalamula nti Emmanuel Makaabugo Musoke ye Kayita omutuufu, omukulu w’Ekika ky’Envubu.

EY’EKKOBE:

Abekkobe bannyanjulira ow’Akasolya omuggya, eyassibwako nga bagoberera ebiragiro bya Ssaabasajja Kabaka. Ono tulinda lunaku Ssaabataka lw’anatuwa ndyoke mu mwanjulire.

Njagala okuddamu okutegeeza Obuganda nti Kabaka by’asalawo ku nsonga y’ekika kyonna bye byenkomeredde, era tewaba muntu yenna akkirizibwa kubiwakanya, wadde okubiwaako ennamula eyiye.

Yenna aba tamatidde n’ekyo Ssaabataka ky’aba alamudde, asooka kweyanza, olwo n’akwata mu nkanamu (kino kitegeeza okusaba Magulunyondo addemu atunule mu nsonga eyo).

Mu ngeri eyo, Kabaka ky’aba asazeewo ate tekidda wa Katikkiro, oba mu Lukiiko lwa Bataka, oba olukiiko lw’ekika ekikwatibwako.

ENSONGA ENKULU EZIRI MU GGWANGA:
Ebbago ly’etteeka ly’ettaka: Ensonga eno twagyogerako dda. Ne Bbaffe yennyini yatulambika dda, ng’ali ku Namulondo.

Ffe tetulaba nsonga yonna eggyisaako nannyini ttaka, ttaka lye nga teyeesiimidde, ate nga tamaze kuliyirirwa.

Enteekateeka za gavumenti ez’okuzimba enguudo; amalwaliro; amasomero n ‘ebirala tuzaagala kubanga Uganda ddala eri mu mbeera mbi nnyo ku byenkulaakulana. Naye kino tekitegeeza nti gavumenti tesobola kusooka kuteesa ne nannyini ttaka, n’okumusasula ssente ezirigyamu nga tennalitwala.

Obuzibu obusinga obunene buli mu bakungu ba gavumenti. Bwe bamanya nti ettaka ligenda kuyisibwamu oluguudo, nga bagingirira ebyapa, nga bapaaza emiwendo , olwo gavumenti ng’ekaluubirirwa okufuna ettaka eryo.

Mu myaka gya 1930,1940,1950,1960,1970 gavumenti mwe yakolera kumpi buli nkulaakulana yonna gyetulabako. Naye gavumenti yamalanga kuteesa ne bannannyini ttaka.

Pulezidenti ali mu kaweefube wakuzza ebbago lino mu ddiiro (ku leediyo ne ttivvi ez’enjawulo). Kino ku bwakyo kirungi, kubanga alina eddembe okuwa endowooza ye. Ekibi, abadde agamba nti ajja kusiba abawakanya okutwala ettaka nga bannannyini tebasoose kuliyirirwa; era nti leediyo ne ttivvi ezibawa omwagaanya ajja kuziggala!

Abawakanya ebbago bwe baba balimba, gavumenti eveeyo erimbulule, naye ate si kugamba nti omuntu awadde endowooza ye asibwe; er ne leediyo emuwa omwagaanya si y’eba ekoze omusango. Gavumenti ku zi leediyo ezo eweerezeeyo abantu baayo abalowooza nti okujjako abantu ettaka lyabwe nga tebasoose kuliyirirwa kisaanidde (so si kuziggala).

KYAPA MU NGALO: Nga 31 Muwakanya, Omuwanika, Waggwa Nsibirwa yakwasa abantu abasoba mu 200 ebyapa byabwe mu nkola ya Kyapa mu Ngalo. Twongera okukubiriza abantu bonna abatudde ku ttaka ly’Obwakabaka okujja beefunire liizi bongere okunyweza obusenze bwabwe, ate n’okuyitimusa omugaso gw’ettaka eryo (kubanga obwannannyini ku ttaka bukakasibwa na kyapa).
ETTEMU MU BITUNDU BY’EGGWANGA: Ettemu mu bitundu bya Uganda ebitali bimu (naye okusinga muBuganda) lizzeemu. Mu Busiro (Nkumba, Entebe); mu Kyaddondo (Nansana); Mawogola (sembabule, Lwemiyaga); Buddu(Lwengo, Kabonera); Mawokota (Mpigi) ne mu bitundu ebirala wabaddeyo ebikolwa eby’obukambe n’obutemu. Abakazi bakwatibwa, ate bwe bamala ne babasonseka ebiti mu mibiri gyabwe.

Ku lwange, ne ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, nsaasira nnyo abafiiriddwako abantu baabwe, n’abo bonna abatulugunyiziddwa mu ngeri ezitali zimu.

Ettemu lino kirabika likolebwa abantu abaagala okussaawo embeera ey’okweraliikiriza Bannayuganda. Okuva ettemu lino lwe lyatandikibwa, teryalimu kigendererwa kyakubba bintu/ssente.

Abantu bayingirirwa mu maka gaabwe nga beebase, oba abakazi bagwikirizibwa nga bava ku mirimu ,ne battibwa, ate ne wataba kinene nnyo kibatwalibwako.

Bwe twayogerako emabega awo nti bano si babbi ba bulijjo, wabula abantu abaagala okwewanisa abantu emitima, olwo baataandiikirizza okubba obuntu obutonotono (beefuule nga ababbi aba bulijjo, abanoonya eby’obugagga), nga bwe baakoze erudda lw’e Mpigi.

Ababbi aba bulijjo abanoonya okwegaggawaza nabo baalabye tewali kikolebwa bakuumaddembe nabo ne beegatta ku mugano. Amayumba gamenyebwa (Najjeera; Namugongo; Buloba) n’awalala ne babba ebintu bya bantu (essimu, kompyuta, enkoko n’ebirala).

Tukowoola gavumenti ennyonnyole ekigenda mu maaso; tukowoola poliisi erekere awo okugamba nti “enoonyereza”, etandikire ddala okukwata abatemu, ekungaanye obujulizi obubalumiriza, era basimbibwe mu mbuga z’amateeka.

Ku bitongole ebikessi ebingi byetulina, tetuli bamativu nti gavumenti eyinza okulemererwa okukwata abazigu bano.

Okwewanisa abantu emitima kiyinza okubaako abatonotono abakifunamu, ne gye binaggwera nga Uganda kigitadde mu kasambattuko akayinza ate okuzaalira makaayi ebitukula….!

OKUKYUSA MU SSEMATEEKA/OKUJJA EKKOMO KU MYAKA OMUNTU KW’ASOBOLA OKUBEERERA PULEZIDENTI: Nga 29 Mukulukusabitungotungo,twayisa ekiwandiiko ku nsonga eziri mu ggwanga. Mu kiwandiiko ekyo twasaba wabeewo okuwuliziganya n’obwenkanya eri enjuyi ebbiri: oluwagira okujja ekkomo ku myaka omuntu kw’asobolera okubeera pulezidenti, n’olwo olukiwakanya.

Twasaba wabeewo obwegendereza ku nsonga ezikwata ku ssemateeka, kubanga bwe zitakwatibwa na bwegendereza kiyinza okuleetera Uganda emireeremebe egiyinza okudobonkanya buli kintu.

Twasaasira n’ababaka abaakosebwa mu kavuvungano ng’abamagye beesozze ekisenge kya palamenti ekiteesezebwamu ne babasikambulayo n’amaanyi.

Kaakati ebbago ly’okujja ekkomo ku myaka oli kw’ayinza okuvuganyiza okubeera pulezidenti ly’amaze okwanjulwa, era banaatera okuliteesaako.

Kyokka ennambika gyetwakola ekyali ya nsonga ne mu budde buno, era ne mu biseera ebiggya mu maaso.

Ekirungi, Pulezidenti Museveni bwe yabadde e Bushenyi mu kujjukira Ameefuga ga Uganda, yagambye nti mu nkola eya demokulaasiya enjuyi zonna zirina okulekerwa eddembe okwogera kyezaagala.

Naye kati poliisi bw’eraba abaambadde ebimyufu ng’ebakwata. Abaana b’essomero abaabadde bagenda okuyimbira - ate ku mikolo poliisi gye yategese e Nkumba - nabo baakubiddwa emiggo n’okutulugunyizibwa lwa kwesiba obugoye obwa langi emyufu ku mitwe (eziri mu bbendera ya Uganda!).

Aba booda booda abaakubye abaana bano bamanyiddwa bulungi, naye tewali kyakoleddwawo. (Enkola eyo eyawukana n’ebigambo bya pulezidenti, era emenya amateeka mwe tutambulira).

Mu kiwandiiko kyetwafulumya, twasaba Bannayuganda babeere beegendereza bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku ssemateeka.

Ssemateeka kye kifundikwa ky’obwesigwa.

Ekifundikwa ekyo kye kirambika esonga z’obukulembeze, wakati w’abakulemberwa (bannansi) n’abakulembeze.

Ebyasibirwa mu kifundikwa ekyobwesigwa, mu ssemateeka, byesigamizibwa ku bwetaavu bw’ensi yaffe – ng’abaabaga ssemateeka balondoola empagi luwaga ezisobola okunyweza Uganda.

Buli lw’olowooza okusumulula ekifundikwa weetaaga okubeera omwegendereza, kubanga bwekisumululwa, oba okusokoolwa awatali nsonga ya ssimba, oyo akikola alabibwa nga abeera asuula obwesigwa.

Mu Buganda omuntu bw’akwasibwa ekifundikwa eky’enju enkulu, asuubirwa okukikuuma obulungi. Bwewataba bwegendereza nga kiwanyisibwa, oba nga kikyusa emikono awatali nsonga nnambulukufu, ab’omunju eyo basaasaana, olussi abamu ne bazaawa.

N’olweko abantu b’omunju, Uganda, basaana okuteesa ku nsonga y’ekifundikwa kino ekyobwesigwa mu bwesimbu,nga tebatiisibwatiisibwa, awatali kwekkiriranya, ate nga beewala obwannakigwanyizi.

Abantu bonna basaana bawulirizibwe, nga bassibwamu ekitiibwa, nga pulezidenti bwe yayogeredde e Bushenyi, era ababaka tebasaana kukola ebyo ebyawukana n’endowooza z’abo abaabatuma.

 

EBISEMBAYO:
E Kenya tewannatereera olw’enteekateeka z’okuddamu okulonda pulezidenti. Tukubiriza Bannakenya beewale obusambattuko obuyinza okukonzibya ebyenkulaakulana, n’okuyiwa omusaayi. Kyokka kkooti ey’oku ntikko yakola ekitatera kulabwa mu nsi ezikyakula.
D.D. Ntanda Nsereko, omulamuzi mu kkooti y’ensi yonna mu Hague, Netherlands, yawandiika enkuluze y’amateeka mu Luganda n’Olungereza. Bannamateeka abakolera abantu nga bategeera Luganda lwokka esobola bulungi okubayamba okunnyonnyola emiramwa gy’amateeka mu Luganda.

Tumwebaza nnyo.

Okukuuma, Okunyweza n’Okutaasa Namulondo: eyo ye Ssemasonga ya Buganda Esooka, era buli ali mu buweereza mu Buganda gyetumusuubira okusoosowaza. N’olwekyo mbasaba nti mu buli kyetukola, kyetwogera, kyetuteesa, tujjukire nti mulimu gwaffe okukuuma Kabaka wamu n’ennono n’obuwangwa bwaffe.

Ssaabasajja Kabaka Awnagaale!

Charles Peter Mayiga

KATIKKIRO

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK