
Abakungu abagya.
Lw’ategeka omukolo gw’Okukyusa Omubaka n’Abakungu ba Ssaabasajja mu UK ne Ireland
Ku lwomukaaga nga 22 kasambula (July) 2023.
Essaza lya Ssaabasajja erya UK ne Ireland lyabadde n’omukolo ogw’okwebaza omubaka, Abakungu n’Abaami abaawumudde n’ okwaniriza Omubaka, Abakungu n’Abaami abagya.
Omukolo gwabadde Crystal Palace mu Bendobendo lya South London.
Owek. Ronald Lutaaya ye mubaka eyawummudde wamu n’Abakungu kumi nababiri (12) oluvanyuma lw’emyaka munaana (8).
Owek. Ronald Lutaaya wamu n’olukiiko lwabadde awereeza nalwo baasimiddwa era nebebazibwa olw’obuwereeza obwa nnakyewa bwebakoledde emyaka egisoba mu musanvu (7).
Owek. Lutaaya yayogedde ku bitukidwako mu kiseera mwaberedde Omubaka, omuli okuteeka mu nkola enteekateeka y’Amabendobendo, okuteekawo empuliziganya okuyita ku mitimbagano, okukunga n’okugatta abantu ba Kabaka abawangalira mu UK ne Ireland.
Owek. Lutaaya yakwasizza Owek. Kibuuka bendera ya Buganda ng’akabonero akokuwaayo obuyinza.
Omubaka omugya – Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka abadde mukubiriza w’Ababaka b’Abataka mu UK ne Ireland. Abakungu kumi n’omu (11) abagya beegase ku bakungu omunaana (8) ababade baweereza ku lukiiko olukadde. Olukiiko lw’Omubaka kati kuliko Abakungu kumi namwenda (19).
Owek. Kibuuka yategeezeza abaabadewo nti ensonga enkulu olukiiko lwe zerugenda okusaako essira kwekulaba nti abantu ba Ssaabasajja mu ssaza lino bali bumu ate bekulakulanya.
Omukolo gwabadeko abagenyi abenjawulo omwabadde abalangira Golooba, Danny Kajumba, Herbert Kateregga n’abalangira abalala. Era kwabaddeko Muky. Sarah Nsambu Musisi (Namwandu w’omugenzi Joseph Nsambu Musisi eyali Omubaka), Mukungu Dr. Godfrey Sekweyama, Ababaka b’Abataka mu UK ne Ireland, Abakulembeze b’enzikiriza ezenjawulo, Abaami ku nkiiko z’Amabendobendo (East London, South London, North London, Manchester ne Scotland) wamu ne mikwano gya Buganda abawangalira mu UK ne Ireland.