Abatuuziddwa ye mubaka, Oweek. Henry Ndawula, omumyukawe Fiona Nattabi Kafeero, n'olukiiko lwabwe lwonna, ng'omukolo ogubadde ku Mcdevitt Middle School, e Waltham, mu kiro ekikeesezza olwa leero.
Katikkiro yeebazizza Oweek. Kato Kajubi, awummudde obuweereza olw'emirimu gy'akoze, n'akuutira abakulembeze abaggya okuweereza obulungi abantu ba Kabaka, n'okutema empenda ezivvuunuka ebisoomoozo, wakati mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Akubirizza abantu b'Omutanda e bunaayira okwegatta bakole ensimbi, babeeko eky'enkulaakulana eky'omuzinzi kye batandikawo.
Abakuutidde okunnyikiza abaana mu buwangwa n'ennono zaabwe, awamu n'okubamanyisa ebikwata ku Bwakabaka ne Afirika yonna.
Abadde omubaka wa Kabaka, Oweek. Kato Kajubi, yeebazizza nnyo Kabaka, olw'okulonda Katikkiro Charles Peter Mayiga, akoze obulungi omulimu gwe.
Bakungaanyizza ddolla 1,2800, ez'okusima enzizi mu kaweefube ow'okulwanyisa ebbula ly'amazzi amayonjo mu Buganda.
Omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Baminisita, abaami ba Kabaka mu masaza g'ebweru, awamu n'ekibinja ky'abakungu abaava e mbuga.
