Basisinkanye ne bejjukanya ku nnono n'obuwangwa bwabwe.
Ensisinkano ebadde ku Flottsbro camping site, Huddinge Stockholm, mu Sweden, wansi w’Omulwamwa, "Buganda ey'Enkya".
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu bitundu by'e Scandinavia, Oweek Nelson Mugenyi ye yabadde omugenyi omukulu, nga yakubirizza abavubuka okunyweza obumu n’okwagala ennyo obuwangwa bwabwe.
Omukiise w'Abavubuka ku lukiiko lw'Omubaka e Scandinavia, Paul Ntambi, ye yakulembeddemu enteekateeka eno gye baatuumye, "The first Buganda Youth Camp in Europe".
Baayolesezza ennyambala y'Omuganda; emizannyo; ekyooto; okutyaba enku, n'okuvuga amaato.