donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Ekyeggulo kya Buganda mu Bungereza ekya bulimwaaka ekya 2018

omubaka ronald lutaaya 

 

Njagala okwebaza mwena abajjumbidde Buganda UK Annual Dinner 2018 okuli ne mbaga y'omulangira Kateregga.

Mwebale nnyo mwebalire ddala kuba *ticket ziweddewo.*

Okugatta Abagole kuli ku St Johns Church, Waterloo, Waterloo Road, London SE1

Musabibwa okubeera nga mutudde mu Kanisa ku saawa Mukaaga n'Ekitundu ez'emisana.

Annual Dinner / Royal wedding reception etandiika *esaawa Kumi n'emu* ez'olweggulo. *Wetegereze ticket yo okumannya ekifo*.

Nga bwemumanyi mu mwezi guno Bungereza eba mu kawefube wa kukunganya nsimbi eziyamba abaana abali mu bwetaavu mu week eno. Tusaba abo bonna abalina obusobozi batukwatireko okukungannya sente ku lwa Kabaka Foundation Education Fund.

Waayo ku eventbrite oba tukiriira Omukungu mu Bendobendo lyo.

Era nate, mwebale nnyo mwebalire ddala obuwagizi bwammwe.

Ssaabasajja Kabaka Awangaale

Ronald Fredrick Luyinda Lutaaya
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Bungereza ne Ireland.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK