Ssaabasajja n'omutaka Kayiira Gajuule
Emikolo emikulu gibadde mu Lubiri e Mengo, Ssaabasajja ne yeebazizza Katonda olw’okumukuuma n’atuuka ku myaka 30 ng’alamula Obuganda.
Asiimye abantu bonna abakoleredde Obuganda mu biseera eby'enjawulo naddala abo abalwana obwezizingirire okukuuma Obuganda mu biseera nga Obwakabaka buwereddwa, omuli Abalangira, Abambejja; Abataka; Bannaddiini, n’abantu bonna abalala abalina kye baakola.
Omuteregga alagidde abavubuka obutava mu byalo nga beeyuna ekibuga era beewale okwetundako ettaka lyabwe, bayige obugumiikiriza.
Ssaabasajja annyonnyodde abantu obukulu bwa Federo n’ategeeza nti mu nkola e’ya Federo, buli kitundu kijja kusobola okukulaakulana olwo ne Uganda ng'eggwanga nayo esobole okukulaakulanira awamu.
Alabudde abantu okwewala okubongoota, kuba newankubadde Obwakabaka tubwagala nnyo, waliwo abatabwagala.