Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Ssaabasajja Kabaka ajaguzza okuweza emyaka 66

Ssaabasajja Kabaka ajaguzza okuweza emyaka 66

Ssaabasajja Kabaka ajaguzza okuweza emyaka 66. Emikolo gibadde mu Lubiri e Mengo.

Ku mukolo gwegumu Ssaabasajja aliko abantu basiimye olw'emirimu gyabwe eri Obwakabaka.

Ku bano kuliko; 

1). Tofiri Kivumbi Malokweza (Kaggo eyawummula)
2). Annet Nandujja
3). Hajji Bulayimu Muwanga Kibirige (BMK). Ono ye mutandisi wa Hotel Africana.
4). Dr. Ken Chapman Kigozi. musawo wa mannyo e Mengo.Yazaalibwa mu1950 mu texas USA. Amaze emyaka egisoba mu ana (40yrs) mu Uganda nga ajjanjaba abantu. 
5). Joseph William Kiwanuka, ono ye mutandisi wa kampuni ya insurance eya "SWICO" nga ali wamu n'Omugenzi Owekitiibwa Ssebaana Kizito. 

Mu ngeri yeemu, ekitabo "Mutebi II Kabaka Omulwanirizi ow'ebyaffe", ekyawandiikibwa Timothy Mugerwa Ntanda Lukabi, kitongozeddwa olwa leero ku mazaalibwa ga Kabaka ag'e 66. 

Amazaalibwa gatambulidde wansi w'Omulamwa, "Abavubuka okubeera abasaale mu kulwanyisa mukenenya". 

Omuvubuka Kintu John eyazaalibwa n'akawuka ka mukenenya awadde obujulizi kwebyo byayitamu olw'obulwadde buno. 

Ekitongole kya UNAIDS kyalonda Ssaabasajja Kabaka okubeera emunyenye mu kulwanyisa mukenenya mu Uganda ne mu bugwanjuba bwa Africa n'ekigendererwa okulaba nga mukenenya afuuka lufumo wetunaatuukira mu mwaka gwa 2030. 

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu Lubiri naategeeza nti Amazaalibwa ga Kabaka liba ssanyu gyereere, era kirungi abantu bajaguze naye betangire mukenenya, era beekebeze. 

Omukolo gwetabiddwako, Nnabagereka Sylvia Nagginda, Abalangira n'Abambejja, Omumyuka womukulembeze w'Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Ba Katikkiro abaawummula, Baminisita ba Kabaka, Bannaddiini mu nzikiriza ez'enjawulo, Abaami ba Kabaka, n'Abakungu mu Gavumenti ya wakati, bannabyabufuzi, n'Obuganda bwonna.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK