
Super Supreme Mufti, Sheikh Shaban Muhammad Galabuzi, wakati nga ali n’abakulembeze b’abavubuka mu Buganda e Kibuli
Olukiiko olukulembera abavubuka mu Buganda, nga lukulembeddwamu Ssentebe, Munnamateeka Derrick Kavuma, bakyaliddeko Super Supreme Mufti.
Super Supreme Mufti abasabye okukubiriza abavubuka okunyweeza ennono n'obuwangwa bwaffe, okubasomesa obukulembeze, okukuuma empiisa, wamu n'okwenyigira mu mirimo egiyingiza ensimbi basobole okweyimirizaawo.
Ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Munnamateeka Derrick Kavuma, ategeezezza Super Supreme Mufti nti Ssaabasajja yabatuma okugatta abavubuka bonna mu ddini ezenjawulo okusobola okunyweza enyingo y'obumu mu bavubuka n'abantu ba Kabaka, wamu n'okubakubiriza okukola obutaweera wamu n'okunyikiza obukulembeze okutuuka ku buli muvubuka.

Super Supreme Mufti Galabuzi ku kkono nga ayaniriza Ssentebe w’abavubuka mu Buganda
Before the meeting, the youth attended Juma prayers at the mosque in Kibuli.
The chairman was accompanied by Lazia Nantamu (Secretary), Reacon Kaggwa (Treasurer), Sheikh Musa Lubega (Projects and Technology), Nasif Kulumba (Clan Representative), and Wangi Gerald (Education Officer).