donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka ne Kkanisa bitenderezza Oweek. Tofiri Kivumbi Malokweza, Kaggo omuwummuze

Obwakabaka ne Kkanisa bitenderezza Oweek. Tofiri Kivumbi Malokweza, Kaggo omuwummuze
Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule nga ateka ekimuli ku kesi omuli omubiri gw’omugenzi

Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule nga ateka ekimuli ku kesi omuli omubiri gw’omugenzi

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akubagizza ab’enju y’omugenzi, kati Oweek. Tofiri Kivumbi Malokweza, n’abasaasira okuviibwako omuntu waabwe, gwatenderezza olw’okwolesa obwagazi eri Kabaka we mu kumuweereza, ssaako okusikiriza abalala okwagala Obwakabaka.

Obubaka bwa Katikkiro bwetikkiddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, mu lutikko e Lubaga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Oweek. Tofiri Kivumbi Malokweza, omwami w’Essaza Kyaddondo omuwummuze era omusirikale wa Paapa.

Ku lulwe, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule ayogedde ku mugenzi nga omuntu ayambye ennyo okuzimba n’okwagazisa abaweereza emirimu gy’Obwakabaka.

Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere, nga y’akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa, akuutidde abantu bulijjo okubaako kye bakolera ensi yabwe nga bayita mu buweereza obw’enjawulo, basobole okuleka omukululo ogulibajjukirwako abalibeerawo mu kiseera ekyo.

Joseph Busirike ku lwa bamulekwa yebazizza kitaabwe olw’okubeera eky’okulabirako, naddala mu nneeyisa eri abantu.

Okusaba kuno kwetabiddwako Nnaalinnya Sarah Kagere, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu; Oweek. Joseph Kawuki, Minisita w’Obuwangwa n’Ennono; Oweek. Dr. Anthony Wamala; ba Katikkiro abawummuze; abaami b’Amasaza ab’enjawulo; ab’oluganda n’emikwano gy’omugenzi.

Omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa mu maka ge ku kyalo Ngondati mu Buddu, gy’anaaziikibwa olw’okusatu luno.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK