
Abavubuka ba Nkobazambogo nga bawuliriza ku musomo gw’obukulembeze mu Bulange
Obwakabaka bwa Buganda butegese omusomo ogw’abavubuka abeegattira mu kibiina kya Nkobazambogo, nga baganyuddwa mu kuyiga ku nsonga ez’enjawulo, naddala obukulembeze.
Omusomo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwomukaaga, nga Bannankobazambogo okuva mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo basomeseddwa ku miramwa egy’omugaso okuli obukulembeze, obuwangwa, ennono n’obulambuzi, eby’amawulire ne tekinologiya.
Bw’abadde ayogerako eri abavubuka, Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga abasabye okutegeera nti obukulembeze si kifo wabula buvunaanyizibwa eri bookulembera n’abakuli waggulu. Abakubirizza okuba ab’amazima, okwewala okwebulankanya, era okuwangula obwesigwa mu bantu kibayambe okutambuza obukulembeze mu ngeri entuufu.

Abavubuka ba Nkobazambogo nga bali ne Minisita Owek. Robert Serwanga (7 okuva ku kkono).
Owek. Serwanga era abalabudde ku nkozesa y’emitimbagano, n’abasaba okwewala ebibaviirako akabi wabula banoonye ebitabagattako. Yeeyamye nti Minisitule y’Abavubuka egenda kwongera okubayamba okufuna obumanyirivu mu bukulembeze.
Ku nkomerero y’omusomo, Bannankobazambogo baakubiriziddwa okwagaliza Kabaka, n’okwetaba mu nteekateeka ez’okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 70.
Omusomo guno gwe gw’omutendera ogusooka mu gya ssatu egirina okuyisibwamu abakulembeze b’abaana n’abavubuka ng’enteekateeka ya Minisitule y’Abavubuka bwe eri.