
Ekifananyi ky’omugenzi nga bwabadde afanana
Ku lwa Katikkiro, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa y’asomye obubaka, mw’alagidde okunyolwa n’okusaasira abenju y’Omulangira kati omugenzi Paul Kyabaggu.
Katikkiro alaze nti Omulangira Kyabaggu yayatiikkirira nnyo ng’omu ku Bannabudddu abagunjawo obusuubuzi mu kibuga Kampala mu myaka gy’e 70. Owoomumbuga asiimye obuyiiya bw’omugenzi olwa kkampuni ya Bukoola Chemicals ejunye ennyo abalimi olw’eddagala ly’ebirime n’ebisolo ate nga bya mutindo omutuufu.
Oweek Mayiga alaze nti omugenzi aweerezza era n’ayagala Obwakabaka ne Kabaka we ”omugenzi ayagadde nnyo Kabaka we era aweseza Nnamulondo ekitiibwa era tumusaalidwa nnyo”.
Katikkiro Mayiga akubagizza Nnamwandu Margaret Kyabaggu era asabye bamukekwa okubeera abakaklamu era bakulembeze ebigambo bya kitaabwe eby’okubeera abakkakamu n’empisa olwo lwe banaatwala omukululo gwe mu maaso.
Abantu ab’enjawulo batenderezza omutandisi wa Bukoola Chemicals, kkampuni enkozi y’eddagala ly’ebirime era omutandisi wa St. Joseph of Nazareth – Katende, Omulangira kati omugenzi Dr. Paul Mawanda Kyabaggu bwe babadde mu kumusabira mu Ekelezia Lutikko e Lubaga.
Ssaabasumba eyawummula era omubaka wa paapa eyawumula Augustine Kasujja. kubulira kwe asoomoozezza abantu ba Katonda okunyweza okukkiriza kwabwe nga benyigira mu mirimo gy’ekelezia nga bakoppa Omulangira Mawanda Kyabaggu. Ono agamba nti omugenzi abadde kyakulabirako kirungi olw’okwenyigiranga entakera mu mirimo gy’ekelezia.

Nabagereka ,Nalinnya Nabaloga ne Nalinnya Sarah Kagere nabobetabye mu kusabira omugenzi
Nnamwamdu Muky. Margaret Kyabaggu yebazizza nnyo Omwami we olw’okumulonda mu bantu abangi n’amufuula omukyala era ategezeeza nti baakugenda mu maaso n’omukululo gw’alese okugeza nga okuyamba abantu mu byenjigiriza n’ebintu ebirala.
Ku lwa bamulekwa Dr. Peter Kyabaggu atenderezza kitaawe okubagunjula wamu n’okubasomesa engeri gye bayinza okwe??anga ensi, “Taata abadde wa nkizo nnyo mu kutugunjula, okutusomesa, okutulaga abantu n’okutulaga engeri gye tusobola okuyita mu nsi era tumwebaliza ddala era ndowooza agenze musanyufu’ Kyabaggu bw’ategeezezza. Ono yeyamwe nti bakwongera kw’ebyo by’alese babitwale mu maaso.
Mmisa yetabiddwamu Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Nnalinnya Sarah Kagere, Nnaalinnya Agnes Nabaloga, Omumyuka wa pulezidenti eyawummula Edward Kiwanuka Ssekandi, ba Katikkiro abaawummula Baminisita okuva mu e Mmengo wamu ab’emikwano ne ng9anda z’omugenzi.
Okuziika kwa Lwokutaano e Kanabulemu mu Masaka Buddu