
Minisita Choltilda Nakate Kikomeko (wakati, mu gomesi) ng’ali ne ba Ssenkulu b’amasomero g’Obwakabaka ku Bulange.
Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti bugenda kwongera ku bungi bw’amasomero g’abaana abato mu masaza gonna, nga bwagala okusitula okusoma kw’abaana okuva ku mutendera oguusoka.
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, asisinkanye ba Ssenkulu ba Bboodi z’amasomero g’abaana abato mu Bwakabaka.
Minisita Nakate asinzidde ku Mbuga ya Bulange n’ategeeza nti Obwakabaka bwawandiikidde amasaza gonna agakyalina ebifo ebirala ewasobola okuteekebwaamu amasomero g’abaana abato, bagawandiikire Obwakabaka gaweebwe amasomero amalala.
Owek. Nakate agamba nti abaana bwe batasoma, Obwakabaka buba bwereetedde obuzibu okukonzibya omugigi mu nkulaakulana n’obutamanya mu biseera eby’omumaaso.
Omukwanaganya w’Ebyenjigiriza mu Minisitule y’Enkulaakulana y’Abantu, Omuk. Dr. Leticia Nakimuli, akubirizza ba Ssenkulu bano okukola ekisoboka okunyonyola abazadde omulimu ogukoleddwa Obwakabaka ogw’okusembeeza amasomero gano agasookerwako mu bitundu byabwe, basobole okubawa abayizi.
Ssenkulu wa Lubiri High School–Buloba Campus, Omuk. Gitta Amos, eyabadde omusomesa omukulu mu nsisinkano eno, ayigirizza ku nsonga z’obukulembeze, engeri amasomero gano gy’egenda okutambulamu, eby’ebyensimbi, enkwata y’abakozi n’ebirala.