
Abakyala nga basala keke nga bali ne Owek. Mariam Mayanja e Bulemezi
Omukolo guyindidde ku Mbuga ya Musaale Wakyato mu disitulikiti ye Nakaseke.
Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde bw’Ensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka, yabadde omugenyi omukulu; ate Minisita w’Akanyigo k’e Luwero, Alice Kaboyo, yabadde omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno.
Mukwogerako eri Abalemeezi, Owek. Mariam Mayanja yebazizza enteekateeka ekoleddwa mu bikujjuko bino n’obumu mu kukunga Abakyala kwe boolesezza ne bajja mu bungi. Wabula n’alabula abalya nnaka okwewala okulimbibwalimbwa bannabyabufuzi mu kaseera kano nga bali mu keetalo k’okuwenja akalulu, n’abasaba okulonda n’obwegendereza.
Omwami w’Essaza Bulemeezi, Owek. Kkangawo Ronald Mulondo, yennyamidde olw’omuze gw’okufumbiza abaana abato ogulemedde mu bitundu bye Nakaseke, n’ategeeza nti eno y’emu ku nsonga lwaki basazeewo okuteeka omukolo guno mu bitundu bino okusobola okumanyisa abantu ku kabi akali mu muze guno.
Omukolo guno gukulembeddwamu emisomo n’emizannyo egy’enjawulo, era abawanguzi bavuddewo n’ebirabo okuli gomesi y’Abakyala, ensimbi enkalu n’ebirala.