Katikkiro ng' atongoza Ttabamiruka wa Buganda asoose mu Bulaaya nga ali wamu n'aba Minisita abamuwerekerako
Omukolo gwokutongoza ttabamiruka wa Buganda Bumu Europe Convention, gukoleddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Green Towers Community Centre mu kibuga London wakati mu bantu ba Kabaka abawangaalira mu bitundu byeyo okwetoloola Amasaza ge Bulaaya okuli, Bungereza ne Ireland, Scandinavia, ne Rhinelands.
Katikkiro bano abakuutide okunyweza obumu era beeyagalire mu buwangwa bwabwe era tebawa muntu yenna mwagaanya agezaako okubawuddiisa abaggye ku mulamwa n'abalabula nti abantu abo beenoonyeza byabwe.
"Tetwagala muntu yenna kutwagala kasita ffe tweyagala, era bwetweyagala teri ayinza kutuyisaamu maaso, "Buganda erimu abantu obukadde 15", bwetuba obumu ne tweyagala omuntu omulala yenna alina okutweyunira", Katikkiro bwategeezezza.
Ababuulidde okwolesebwa kwa Buganda kweriko nti kuno kwefaanaanyirizaako Abayudaaya mu America, omuwendo gwabwe mutono naye be bafuga buli kimu mu America, omuli, bank, emikutu gy'amawulire, ebyenfuna n'ebirala era buli muntu abeekwata, ekyo ne Buganda ey'omulembe Omutebi kyeyetaaga.
Wabula agamba nti okutuuka ku bino byonna abantu ba Kabaka balina okukomya okwekubagiza nti buli lwodda mu kwekubagiza ne kyewandisobodde okukola kikulema. Awadde eky'okulabirako kya Abayindi ne Barack Obama nti singa badda mu byokwekubagiza tebandisobodde kutuuka mu bifo bya bukulembeze era nokukulaakulana mu byenfuna tekwandisobose.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, asinzidde ku mukolo guno najjukiza abantu ba Kabaka naddala abawangaalira mu Bulaaya, ku bubaka obwali mu kwogera kwa Kabaka mu kukuza amatikkira aga 31, Beene yeebaza abe bunaayira okwagala ennyo Kabaka okuli abavubuka n'abalala era naabasaba okwagala okwo bakukole mu buntubulamu nokugoberera ennono zaabwe n'obuwangwa nga tebakkirizza kubuzaabuzibwa, era yabategeeza nti Buganda ekulemberwa Kabaka nga ayambibwako Katikkiro ye kennyini Kabaka gweyelondedde.
Owek. Joseph Kawuki ng'awa obubaka bwe
Minisita Kawuki takomye okwo, era abajjukizza ebigambo bya Ssaabasajja Kabaka bweyali ayogerako eri abantube mu lukungaana lwa Buganda Bumu North American Convention e Chicago mu 2021, yabalabula ku bantu abatera okweyogerako nti baagala nnyo Buganda okusinga abalala nti abantu abo babeegendereze.
Oweek Kawuki ayagala bawemuukirize abantu abo nga tebabawa mwagaanya gwonna olwo bajja kupondooka.
Wabula era Oweek. Kawuki abasabye buli muntu okubaako n'ettaffaali lyagatta ku bwakabaka, bagoberere okulambika okuva mu baami ba Kabaka kubanga byebabanjulira bya Kabaka ssi byabwe nga abantu.
Oweek. Kawuki abasabye okutwala obugenyi buno nga ensonga enkulu ennyo gyebali kubanga kabonero akooleka nti Ssaabasajja Kabaka abalowoozaako mu kaweefube w'okuzza Buganda ku ntikko n'abawa amasaza okuli, Bungereza ne Ireland, Scandinavia, ne Rhinelands.
Mu kino Kabaka yassaawo Minisitule ebatwala eyasooka okukulemberwa Oweek Amb Emmanuel Ssendawula, Oweek Charles Bwenvu, ne Oweek Joseph Kawuki aliko mu kiseera kino. Mu buufu obwo, Kabaka yakkiriza okugaziya emikago n'abantu be bunaayira kwe kussaawo enteekateeka ebagatta bonna nebawuliziganya eya ttabamiruka.
Yeebazizza Abaami ba Kabaka abakoze ekisoboka okulaba nga ttabamiruka abaawo. Era yeebazizza olukiiko olwabaga ssemateeka anatambulirwako ttabamiruka olukulemberwa Muky. Janat Nabatta Mukiibi omwami wa Kabaka atwala ebbendobendo lye South London.
Abantu baazze mu bungi okwetaba mu Ttabamiruka ono
Omukolo gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka okuli, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Oweek Ahmed Lwasa, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek. Anthony Wamala, Oweek. Hajji Amisi Kakomo, abaami baamasaza abenjawulo n'abamyuka baabwe, akulira Buganda Land Board Omuk. Simon Kaboggoza, n'abaami ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo.
Ttabamiruka atambulidde ku mulamwa, "Obuganda ku mawanga; tekinologiya mu kutumbulamu, ennono, obuwangwa n'Abavubuka"