donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Sir Geoffrey Vos, omulamuzi omukulu e Bungereza, akyaddeko mu Buganda

Sir Geoffrey Vos, omulamuzi omukulu e Bungereza, akyaddeko mu Buganda
 Awo nga ali mu Lubiri e Mengo

Awo nga ali mu Lubiri e Mengo

Obwakabaka bukyazizza Omulamuzi Omukulu okuva e Bungereza, Sir Geoffrey Vos, Omulamuzi Omukulu owa Kkooti ejulirwamu e Bungereza (England ne Wales).

Ku lwa Katikkiro Owek. Charles Peter Mayiga (ali mu Amerika mu kiseera kino), Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, be baamwanirizza omulamuzi ono akwata ekyokubiri mu nsengeka y’Abalamuzi mu Bungereza.

Owek. Bwanika yagambye nti: “Okukyaza Omumyuka wa Ssaabalamuzi mu Bungereza si kyangu. Kino kiraga enkolagana ey’amaanyi n’obugulumivu Obwakabaka bwe bulina mu nsi yonna. Buganda n’ebikolebwa obukulembeze bw’Obwakabaka bya nkizo ddala.”

Wano nga ali ku Masiro g’e Kasubi

Wano nga ali ku Masiro g’e Kasubi

Ssaabawolereza Bwanika yasiimye nnyo abagenyi b’Embuga, abaakyalidde Uganda okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Kkooti z’Obusuubuzi “Commercial Courts Summit”, olwasoosewo okubeerawo mu Africa, ku Speke Resort e Munyonyo.

Ng’ennaku zaabwe tezinaggwa, bano basaazeewo okukyalako Embuga n’amawanga ag’omulembe.

Sir Geoffrey Vos yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okumwaniriza obulungi, era yasiimye embeera y’abantu mu Buganda, enkulaakulana ez’enjawulo, n’ebyobulambuzi by’agambye nti “bya kitiibwa nnyo era bya byafaayo.”

Wano nga bakulembeddwamu Ssaabawolereza wa Buganda ku Masiro g’e Kasubi

Wano nga bakulembeddwamu Ssaabawolereza wa Buganda ku Masiro g’e Kasubi

Owek. Bwanika yakulembeddemu okulambuza abagenyi b’Embuga ebifo eby’enkizo mu Buganda: Bulange – awatuula Kabineeti, ekisenge ky’Olukiiko lwa Buganda, Twekobe, Olubiri lw’e Mengo, Ennyanja ya Kabaka, n’Amasiro g’e Kasubi.

Sir Geoffrey Vos ye Mulamuzi Omukulu wa Kkooti ejulirwamu e Bungereza, Royal Court of Justice mu Kibuga London, era aweebwa ekitiibwa kya ‘Master of the Rolls’, omulamuzi addirira Ssaabalamuzi wa Bungereza.

Yawerekeddwako Omulamuzi Tijjani Abubakar (Kkooti ensukkulumu e Nigeria), Omulamuzi Nnamdi Dimgba (Kkooti ejulirwamu e Nigeria), Omw. Emmanuel Jani Finnodoro (mukugu mu by’obusuubuzi – Africa House, London), Omw. Omid Reza Nazari (muyambi wa Sir Geoffrey), HW. Jemimah Aciro, Muky. Lisa Liz Akatukwasa

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK