Oweek. Ssaalongo Godfrey Kibuuka nga alayiza abakulembeze abapya
Omwami wa Kabaka ow'Essaza lya Bungereza ne Northern Ireland Oweek. Ssaalongo Godfrey Kibuuka atongozza olukiiko oluggya olukulembera Eggombolola ya Manchester.
Omukolo guno gubadde mu Ggombolola y'e Manchester era Oweek. Kibuuka awerekeddwako Omuk. Robert Mukiibi owa North London, n'Omuk. Janat Nabatta owa South London.
Abakulembeze abalayizidwa n’omubakawakabaka mu kifananyi ekyawamu
Olukiiko olutongozeddwa lukulemberwa;
1. Omuk. Rev. Enoch Kiyaga - Omubaka w'Eggombolola ya Manchester.
2. Omuk. Fredrick Albert Mukungu, Akulira Okukunga.
3. Omuk. G.W Kalanzi - Omuwandiisi.
4. Omuk. Marion Nalumansi Mutumba - Amyuka Omuwandiisi
5. Omuk. Deus Zziwa - Owa Protocol.
6. Omuk. Elizabeth Namutebi Ricketts - Omukwanaganya w'Emirimu n'Okwewumuzza.
Oweek. Kibuuka Godfrey asabye abakulembeze abatuuziddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe n'okubeera abawulize eri Kabaka.