Owek. Ssaalongo Godfrey Kibuuka ku nkoona ng’ayaniriza Owek. Joseph Kawuki ku kisaawe ky'ennyonyi e Gatwick
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, atuuse e Bungereza okwongera okuttaanya enteekateeka za ttabamiruka wa Buganda Bumu Europe Convention (BBECO) asookedde ddala mu byafaayo.
Minisita Kawuki ayaniriziddwa Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lye Bungereza ne Ireland, Oweek. Ssaalongo Godfrey Kibuuka n'Omumyukawe Muky. Janat Nabatta Mukiibi ku kisaawe kye Gatwick mu London.
Ttbamiruka ono wakutuula mu kabuga ka Edmonton akasangibwa mu mambuka ga London okumala ennaku ssatu okuva nga 13 okutuuka nga 15/09/24 era wa kutongozebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Okwetabamu, nsaba weewandiise oba okugule tikiti.