donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lye Bungereza ne Ireland, Oweek Godfrey Kibuuka n'Abamyukabe batuuziddwa mu butongole mu buweereza buno

Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lye Bungereza ne Ireland, Oweek Godfrey Kibuuka n'Abamyukabe batuuziddwa mu butongole mu buweereza buno
Image

Omwami wa Kabaka n’abamyukabe nga Katikkiro abatongoza mu buweereza

Omukolo gwokubatuuza gukoleddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ayambibwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki e Bungereza.

Bwabadde abatuuza, Katikkiro abakuutidde okunywerera ku kituufu obutawuliriza beyogereze kubanga bbo bajja kwogera ku kirungi ekikoleddwa oba ku bitatambudde bulungi, wabula bebaweereza balina okubalabira mu bikolwa sso ssi bigambo kubanga abantu boogera naye nga ebirabwako tewali, bwatyo naabasaba okuba abayiiya bavvuunuke ebisomoozo.

Abategeezezza nti omukulembeze ateekwa okubeera omuvumu okukola ekyo kyalaba nti kituufu, ekyo kyasazeewo bwekimera ebibala olwo nga akirondoola, bwekiba ekikyamu nga akikyuusa.

Ajjukizza abaami naabo bebatwala nti omulembe omutebi gwa kuzzaawo ebyaffe era olwokuba balina ekkatala eryo tebakaaba bizibu wabula bateme empenda ez'okubivuunuka.

Oweek. Joseph Kawuki ne Katikkiro emabega mu maaso omubaka wa Ssabasajja n'abamyukabe

Oweek. Joseph Kawuki ne Katikkiro emabega mu maaso omubaka wa Ssabasajja n'abamyukabe

Abasomoozezza ku kuwayo oluwalo naabasaba bongereko ku bukadde 21 zebawayo omwaka oguwedde kubanga ezo e Buganda kyenkana ziva mu muluka gumu gwokka

Ku nsonga zomutimbagano, Katikkiro asabye abakulembeze obutatambuliza mirimo ku mitimbagano, batuule ne bannaabwe babeeko byebateesa, bawangane amagezi babeeko byebasalawo olwo basse mu nkola ebisaliddwawo.

Abagumizza ku byogerwa ku mitimbagano nti ebyo tebabiwa budde kubanga kizibu nnyo okubiwanirira kubanga ekirimbo kiwanirirwa kirimbo oluvannyuma ekituufu abantu bakitegeera y'ensonga lwaki tetubawa budde tugendera ku nteekateeka zaffe.

Akuutidde Oweek. Kibuuka nabaamasaza, okukolera awamu n'abamyuka, abaamaggombolola, abeemiruka n'abatongole olwo obuweereza bubanguyire.

Abasabye okutambulira ku kukungamizibwa okuva e Mmengo. Tetwagala ba kyetwala mugendere ku Minisita abatwala era abasabye bakolere wamu kubanga tubeera ba maanyi bwe twegatta.

Image 3 15-SEPT-2024_large.jpg

Akulisizza abaawangudde empaka zoluganda, era yeebazizza abateesiteesi ba ttabamiruka asookedde ddala olw'enteekateeka ennungi.

Guno gwe mukolo ogukomekkerezza olunaku olw'okubiri olwa ttabamiruka wa Bulaaya agenda mu maaso mu Bungereza.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK