Omulangira Nakibinge nga ayanizibwa ku kisaawe ky'ennyonyi e Bungereza
Omulangira Mbuga Kassimu Nakibinge Kakungulu era nga ye jjajja w’obuyisiramu mu Uganda yebazizza abayisiramu abeegattira mu Uganda Muslim Community Manchester Twale
Omulangira Mbuga bino abyogedde asinziira ku British Muslim Heritage Centre e Manchester gyasisinkanidde abantu ba Ssaabasajja abawangaalira mu Bbendobendo lya Manchester.
Omukolo guno gwategekeddwa aba Uganda Muslim Community UK Manchester Twale, erikulemberwa Omwami wa Kabaka, Jaffer Kasule Gava era ng’ono ye mumyuka w’Omukungu e Manchester awamu n’olukiiko lw’omukungu mu North of England ne Midlands UK erikulemberwa Rev. Enock Kiyaga Mayanja.
Ngajuliza olugero lw’ekiganda, “agali awamu ge gegaluma enyama”, Omulangira Mbuga yagambye nti omugaso gw’okwegatta tugulabira bulungi ku mawanga gakilimaanyi agasalawo okwegattira mu mikago okugeza European Union, n’emikago emirala egikolebwa amawanga ku lukaku lwa Africa, okuli African Union, okweyongeramu embavu n’okunoga ebibala ebisingawo.
Omulangira Nakibinge nga ali n'olukiiko lwebendobendo lye Manchester
Agambye nti newankubadde Katonda yatonda abantu mu mbeera ez’enjawulo, ekigendererwa kyali kya buli omu okumanya munne.
Abasabye okwewala ensaalwa gyagamba nti yesinze okukosa Bannayuganda n'agamba nti ezo ziba nteekateeka za Katonda.
Ye Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka e Bungereza Oweekitiibwa Ssaalongo Geoffrey Kibuuka mu bubaka bweyatisse omumyuka we era omukungu atwaala e Bbendobendo lino, Rev. Enock Kiyaga Mayanja, yakubirizza abantu ba Ssaabasajja okunyweza obumu okusobola okutuukiriza ensonga ssemasonga ey’obumu awamu n’okwekulaakulanya.
Abalala ababaddewo ku mukolo guno kuliko Oweek. Hasfa Nalweyiso, abakungu Ali Buwembo ne Liz Namutebi, akulira ekibiina ekigatta bbanayuganda e Manchester ekya UCOMM, Hajati Rehema Kawooya, Abakulembeze b’obuyisiramu mu Bungereza omuli Sheik Kalantani Yiga Butanaziba, Sheik Abukadiri Kawooya, Dr. Rashid Kasaato, Abaami ba Kabaka Hajati Nulu Nakitto, Isaac Jakira, Yahya Kakembo Ntambi n’abalala.