Oweek. G W Kibuuka nga ali n'olukiiko olwatuzidwa e South and West England
Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lya UK ne Ireland, Oweekitiibwa Ssalongo Geoffrey Kibuuka yatuuzizza olukiiko lw’eBbendobendo lya South ne West England olunaku lw’eggulo nga 05 Muzigo 2024.
Omukungu Janet Nabatta Mukiibi akulembera e Bbendobendo lya South ne West England eyateeseteese omukolo ogw’okutuuza abaami, yasoose kusiima lukiiko olukadde lweyebaziza olw’omusingi omuggumivu gwebateerawo olukiiko lwe kwerugenda okwongera ettofaali ely’esuula empya mu Bbendobendo.
Yasuubizza era nategeeza abantu ba Ssaabasajja abaasobye mu 200 abazze ku mukolo guno nti, alina essuubi nga olukiiko olugya lugenda kutwaala eBbendobendo mu maaso n’obumalirivu n’obunyiikivu, nga lufuba okuzza Buganda ku ntikko okuyita mu mulamwa gw’essaza ogw’Obumu n’Okwekulakulanya.
Omubaka wa Ssaabasajja, Oweekitiibwa Ssaalongo Geoffrey Kibuuka yayongedde
okuyozayoza abaami era nabakuutira okweyongera okukolera awamu nga batuukiriza omulamwa gw’essaza ogw’Obumu n’Okwekulakulanya.
Omukolo guno gwabaddeko okwanjula abaami ab’emiruka omusanvu egikola e Bbendobendo lya South ne West England nga guno gwemulundi ogusookedde ddala okusala emiruka mu sssaza lya UK ne Ireland.
Omukolo gwetabiddwaamu abagenyi abenjawulo omwabadde Katikkiro w’ekika ky’empologoma omutaka Patrick Kisekka Ddungu, Dr Godfrey Sekweyama Omumyuuka w’Omubaka eyawummula, abakulu b’amadiini, abakungu n’abaami okuva mu mabendo gonna ag’essaza.