donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland yatuuzizza Abaami b'Emiruka mu Bbendibendo lya South ne West England

Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland yatuuzizza Abaami b'Emiruka mu Bbendibendo lya South ne West England
Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka Wakati nabamuyuka be nga baliwamu nabaami bamagombolola n’emiluka ku mukolo kwebatulizidwa.

Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka Wakati nabamuyuka be nga baliwamu nabaami bamagombolola n’emiluka ku mukolo kwebatulizidwa.

Abaami b'Emiruka mu bbendobendo lya South ne West England mu Ssaza lya UK ne Ireland, balayiziddwa era ne batuuziddwa mu buweereza buno.

Omukolo gwokutuuza gwakoleddwa Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lino Oweek Ssaalongo Geoffrey Kibuuka nga gwyindidde mu kitundu kye Feltham mu West London era Abaami ba Kabaka musanvu be batuuziddwa.

Omuk. Janet Nabatta Mukiibi nga awa obubaka bwe wamu n’olukiiko olutesitesi

Omuk. Janet Nabatta Mukiibi nga awa obubaka bwe wamu n’olukiiko olutesitesi

Mu bubaka bwe, Oweek Geoffrey Kibuuka yakubirizza abaweereza b'Obwakabaka okukumaakuma Abantu ba Ssaabasajja awatali kusosola era bafube okuweesa Ssaabasajja ekitiibwa nga boolesa empisa n'enneeyisa ennungi egwanidde omukulembeze.

Omukolo guno ogw’ebyafaayo gwegusookedde ddala mu Ssaza lye Bungereza ne Ireland nga gwaku??aanyizza abantu ba Ssaabasajja abasoba mu 300.

E Bbendobeendo lya South ne West England likulemberwa Omumyuka w’omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lya UK ne Ireland, Janet Nabatta Mukiibi, era nga yeyabadde emabega w'enteekateeka zonna nga ali wamu n'olukiiko lwe oluddukanya e Bbendobendo lino.

Abaami abatuuzidwa nga bali wamu n’omubaka wa kabaka nabamyuka be

Abaami abatuuzidwa nga bali wamu n’omubaka wa kabaka nabamyuka be

Ku mukolo guno, Abaana abato wamu n’abavubuka bayolesezza ebitone eby’enjawulo n’empaka z’olulimi Oluganda era bawangudde ebirabo.

Ab’emiruka omusanvu abatuuziddwa bebano:

  1. Southwark ne Lambeth – Muky. Esther Kyembe
  2. Croydon ne Bromley – Mw. Richard Nkalubo
  3. Kingston ne Richmond – Muky. Josephine Nabaweesi
  4. Greenwich ne Lewisham – Mw. Polycap Kakande
  5. Southampton ne Exeter – Mw. Eddie Semwanga Kimbowa
  6. Surrey ne Sussex – Ssaalongo Mwebya Solomon
  7. Kent ne Dover – Mw. Aaron Mutumba

Omukolo gwetabiddwako;

Omulangira Herbert Kateregga, Oweekitiibwa Kabuuza Mukasa okuva mu Nnabagereka development foundation, omuwanika w’essaza Bulemeezi Dr Kyeyune, Sheikh Kalantane Yiga n'abalala bangi.

 Laba ebifananyi eby’omukolo ogw’okutuza Abaami b’Emiruka mu South ne West England

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK