donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okutongoza Olukiiko lw'Essaza Rhinelands

Okutongoza Olukiiko lw'Essaza Rhinelands
Image

Omubaka n'olukiko lwe.

Olukiiko lw'Essaza Rhinelands lutongozeddwa

Olukiiko luno lutongozeddwa Oweekitiibwa Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga z'Abantu ba Buganda ebweru wa Buganda, mu bubaka bweyatisse omwami wa Kabaka atwala e Ssaza eryo, Oweek Sam Ssekajugo Musoke, ku mukolo ogubadde mu kibuga Amsterdam ekya Budaaki.

Mu bubaka bwe, Oweek Kawuki abasabye okukolaganira awamu ne bannaabwe n'ebibiina eby'enjawulo ebigatta abantu ba Kabaka mu Rhinelands ebimanyikiddwa mu Bwakabaka era ebiwagira enkola y'emirimu gy'Obwakabaka.

Abajjukizza ku bibabakakatako ng'abantu ba Kabaka abawangaalira mu Masaza g'ebweru, omuli, okukiika embuga mu nkola ya Luwalo lwaffe, okusimira abantu enzizi, Amasaza g'ebweru okusigira awamu ensimbi ngaa bayita mu One million dollar Project.

Omukolo gwatandise n'Ekitambiro ky'emmisa kyakulembeddwamu Rev. Fr. Julious Kiyaga owa Uganda Catholics Community, eyasabye abantu obutabongoota nga baweereza Ssaabasajja Buganda edde ku ntikko.

Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza lino, Oweek Sam Ssekajjugo Musoke, yeyamye obutabongootera mu buweereza obwabakwasibwa.

Abakiise basonze ensimbi z'oluwalo zebanaatuusa embuga ssabbiiti ejja. Ate ye Mwami Mawanda owa Nedas foundation yeyamye okuwayo olukiiko luno 500-euro ziyambeko okukola emirimu gya Kabaka mu Ssaza lya Rhinelands.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK