Okutongoza Ekibiina ekitaba bannayuganda mu bitundu bye Banbury mu Bungereza
Ekibiina ekitaba bannayuganda mu bitundu bye Banbury mu Bungereza ekya, The Uganda Community in Banbury, kitongozeddwa
Ku mukolo guno Obwakabaka bukiikiriddwa atwala ebyamawulire ku lukiiko lw'Omubaka atwala Bungereza ne Ireland, Omuk. Frederick Albert Mukungu.
Ekibiina kino kitunuulidde okutumbula enkuza y'abaana mu buwangwa n'ennono, obuntubulamu, n'okunyweza obumu mu bannayuganda abawangaalira eyo.
Mmeeya wa Banbury yabadde omugenyi omukulu era yatongozza ekibiina kino.