
Omugenzi Omulangira Daudi Golooba
N’ennaku mbabikira Omulangira Daudi Golooba eyawummude ku Sunday, 23/02/2025, oluvanyuma lw’okulwalira akabanga.
Omulangira ajja kuterekebwa mu Masiro e Kasubi ku Lwokubiri nga 25/02/2025.
Tusaba Mukama awummuze Mirembe.
Gutusinze nnyo, ayi Beene, tetwakumye bulungi.
Ssalongo Geoffrey Kibuuka
(Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland)