Mu nnaku nnyingi mbabikira mu butongole, omukungu wa Kabaka, Kasimu Muguluma, eyatuvudde ku maaso ku Lwomukaaga nga 14/12/2024.
Twebaza Katonda olw'obulamu bwa mukungu Muguluma, n'ebirungi bya muwereddemu.
Mukungu Muguluma ajja kuzzibwayo awummuzibwe ku butaka bwa ba jjajja be.
Ebisingawo bijja kubategeezebwa.
Tusaba Mukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe n’abasigadewo abagumye.
Gutusinze nnyo, ayi Ssabasajja, tetwakumye bulungi musajja wo, Kasimu Muguluma.
Ssaalongo Geoffrey Kibuuka.
Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland.