Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Oweek. Roberta Waggwa Nsibirwa ga atuuse ku Serena Hotel ewategekeddwa ekivvulu kya #FfeBuddo
Obwakabaka bwa Buganda bukulisizza Buddo SS olw’okuweza emyaka 25 nga batumbula ebitone mu kisaawe ky'okuyimba.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, yakulembedde abakiise okuva mu Buganda okujaguza wamu n’essomero lino elimanyiddwa nnyo olw’okutumbula eby’obuwangwa n’obulombolombo bw’Obuganda.
Ku mukolo ogwabadde ku Serena Hotel, Oweek. Nsibirwa yayogedde eri abagenyi n'asiima omulimu ogukoleddwa Buddo mu kuyamba abayizi okutumbula ebitone byabwe, n'okwagazisa abaana olulimi Oluganda nga bayita mu nnyimba. Yasinzidde mu bubaka bwe okukutira essomero lino olw'okukwatira awamu okusitula omutindo gw'eby'ekikula ky'abayizi, n’okwagazisa abavubuka okwenyigira mu mirimu egikulaakulanya Buganda.
Yeebaziza abakulira essomero lino erya Buddo SS olw'okugatta omutindo ku bulamu bw'abayizi abasomerayo era ategeezeza nti Obwakabaka bwenyumiriza nnyo mu masomero agatakoma ku bya mu kibiina kyokka wabula ne bagatta ku baana ne mu ngeri endala ng'okutumbula ebitone byabwe.
Buddo SS emanyiddwa nnyo olw'ennyimba naddala ezisuusuuta Kabaka n'Obuganda, era nga bano bategese ekivvulu okujaguza emyaka 25 okuva lwe baatandika okuyimba mu 1999.
Abamu ku babaddewo mu myaka gino 25 okuli Omukulu w'essomero lino Mw. Lawrence Muwonge, omuwandiisi w'ennyimba Paul Ssaka, abasomesa, n'abamu ku bayizi ababadde mu lugendo basiimiddwa era ne baweebwa n'emidaali.
Omukolo gwetabiddwako abakungu abalala okuva mu Buganda, okuli Oweek. Vincent Matovu Ssekiboobo, Oweek. Rashid Lukwago n’abalala, nga buli omu yayolesezza essanyu olw'omulimu gwa Buddo SS mu kutumbula eby'obuwangwa n'okwegatta kw’abavubuka okuva mu masomero ag’enjawulo.