Abantu ba Ssaabassajja mwenna abawangaalira mu Bbendobbedo erya East London mbabikira mu butongole Omukungu wa Kabaka eyawummula era omusuubuzi omututumufu ,mukwano gwabangi Paschael Ssekassamba amanyiddwanga PASIKALI afudde.
Pasikali afudde kibwatukira era tusaasira nnyo family ye, abantu ba Ssaabassajja bonna mu East London ne Bungereza yonna okutwalira awamu.
Omukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Gusinze ayi Ssaabassajja, twakuumye bubi musajja wo.
Godfrey Kizito Sekisonge,
Omukungu East London/East Anglia &Essex Bbendobbendo.