Katikkiro nga ayogerako eri abavubuka mu lukungaana
Akkaatirizza nti omuntu ali ku mawanga ekiseera kituuka nga ateekeddwa okunnyonnyola kyali ,ekintu ekiraga obusukkulumu bw'obuwangwa bwaffe.
Okwogera bino, Katikkiro abadde mu nsisinkano n'Abavubuka ba Buganda abawangaalira mu Bulaaya mwebakubaganyirizza ebirowoozo ku mulamwa: Obuganda ku mawanga: - Engeri y'okweyambisa obukugu n'obumanyirivu okuleeta enkulaakulana mu bavubuka.
Kuno kwasinzidde n'akubiriza abaana ba Buganda abali ku mawanga okukola buli kyebakwatako mu busukkuluma olwo gyebabeera babeeguye mu kifo ky'okulowooleza mu kubatiitiibiza ku mawanga.
Katikkiro nga ali n’abantubona abetabye mu lukungaana lw’abavubuka
Akiggumizza nti obuwangwa bwaffe bunnyonnyolerwa mu buntubulamu kuba bwebunnyonnyola omuganda omutuufu; ow'ensa, yekkiririzaamu, munyiikivu, yewa ekitiibwa n'okukiwa abalala, aba mukozi era afaayo okumanya obuwangwabwe.
Abategeezezza nti Beene yesunga okumanya ebivudde mu lukungaana luno naatendereza omutindo ogwolesebbwa abateesa abakubaganyizza ebirowoozo ku miramwa egy'enjawulo egizimba abavubuka ba Kabaka beyawa omulembe Omutebi.
Abakuutidde okunyiikirira ennyo emisomo gyabwe kibayambe okufuuka abenjawulo ate nga bagimalirizza baleme kunyumya bunyumya ku buyivu bwabwe wabula babwoleke mu kukozesa omutindo n'obunyiikivu.
Minisita Joseph Kawuki asinzidde mu lusisinkana luno naakubiriza abavubuka okutambulira mu buwufu bwaabantu abalina ensa kibayambe okunyweza ekifaananyi Kya Buganda eyenkya okufaananako abaweereza abawerako mu bwakabaka abeekwata Oweek. Mayiga nga Kabaka amutumye mu bavubuka naabateekateeka mu buweereza bwa Kabaka.
Abavubuka nga bakubaganya ebirowozo
Abajjukizza nti be bannannyini Buganda eya leero n'enkya bwatyo naabasaba obuteesuulirayo gwannaggamba oba okuba abatunuulizi ku nsonga z'Obwakabaka bwaffe.
Omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Oweek. Geoffrey Kibuuka ategeezezza Katikkiro nti Abavubuka ba Bungereza basitukiddemu okutambulira mu buwufu bwabwe okusobola okutwala mu maaso omumuli gw'okuzza Buganda ku ntikko naasaba abazadde b'abaana abazaaliddwa n'okukulira mu Bulaaya okubanyweza mu nnono zaabwe.
Omusomo gwetabiddwako Abeekitiibwa; Robert Waggwa Nsibirwa, Ahmed Lwasa, Hajji Amisi Kakomo, Israel Kazibwe Kitooke, Nelson Mugenyi, Samuel Ssekajugo, Rashid Lukwago, Hasfa Nalweyiso, Mukwenda n'Omumyukawe, omumyuka wa Ssebwana, Abamyuka b'omubaka e Bungereza: Robert Mukiibi, Ssekisonge, Janat Nabatta, ssaako abaweereza ku nkiiko mu Ssaza Bungereza, abakulembeze b'abavubuka e Bungereza abakulembeddwamu Baker Bbosa n'abavubuka bangi ddala.