Wano, nga yakatuuka ku kisaawe ky'ennyonyi e Gatwick ku ssaawa 12:40
Katikkiro Charles Peter Mayiga atuuse mu kibuga London mu Bungereza, gyagenze okutongoza n'okwetaba mu ttabamiruka wa Bulaaya atuumiddwa Buganda Bumu Europe Convention BBECO.
Atuukidde ku kisaawe ky'ennyonyi e Gatwick ku ssaawa 12:40 era atambulidde mu nnyonyi ya Qatar Airways.
Ayaniriziddwa omwami w'Essaza lye Bungereza ne Ireland Oweek. Godfrey Kibuuka Ssaalongo, ng'ali wamu n'abamyukabe; Robert Mukiibi, Janat Nabatta Mukiibi, ne Godfrey Ssekisonge, ssaako abaweereza ku lukiiko lw'essaza n'Abaami b'emiruka era ayaniriziddwa mu ssanyu eryenjawulo.
Nga ayanirizibwa Oweek. Godfrey Kibuuka Ssaalongo n'Abamyuka be
Kamalabyonna ajja kukola emirimo egy'enjawulo okuli; okutongoza ttabamiruka n'okumuggulawo, ssaako okutuuza Ow'Essaza Bungereza ne Ireland n'okulayiza olukiiko lw'essaza.
Katikkiro awerekeddwako; Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Oweek. Ahmed Lwasa , Baminisita okuli, Oweek. Anthony Wamala, Oweek. Hajj Amis Kakomo, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke ssaako abaweereza b'Obwakabaka abalala.