
Sentebe wa Kabaka Foundation mu UK atongozebwa eri abagenyi ku mukolo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde Obuganda okubeera omumuli gw'okutumbula n'okukulaakulanya Obwakabaka, bakomye okulowooleza mu balala n'obuyambi, era bulijjo bekolere n'okwenyigira obutereevu mu mirimu n’enteekateeka ezigendereddwamu okusitula obulamu bwabwe.
Obubaka bwa Ssaabasajja busomeddwa Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa bwe yabadde atongoza olukiiko oluggya olw’ettabi lya Kabaka Foundation e Bungereza ne Ireland, ku mukolo ogubadde mu Royal National Hotel mu kibuga London.

Omulangira Jjunju ng’asala keke ku mukolo gw’okutongoza olukiiko
Omutanda asiimye abantu ba Buganda abali emitala w’amayanja abakoze obutafaayo okuvujjirira ekitongole kya Kabaka Foundation, okusobola okutumbula embeera z’abantu be.
Maasomoogi yasiima okuggulawo amatabi g’ekitongole mu mawanga ag’enjawulo, agali ku mulimu omunene ogw’okunoonya obuyambi n’obuvujjirizi, okusobozesa emirimu gy’ekitongole okugguka.
Ssenkulu w’ekitongole, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, agambye nti emirimu mingi gy’ekitongole giwomeddwamu omutwe boodi zino ez’enjawulo Kabaka z’azze atongoza, okuli Kabaka Foundation Sweden, Midwest USA, California, Boston ne Canada.
Omubaka wa Ssaabasajja mu Bungereza ne Ireland, Ssaalongo Geoffrey Kibuuka, atenderezza nnyo Kabaka olw’emirimu egikoleddwa ekitongole kya Kabaka Foundation egiyamba okusitula embeera z’abantu.
Ssenkulu w’ettabi lya Bungereza ne Ireland omuggya, Mutumba Henry, ku lwa boodi, yeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa Ssaabasajja.
Laba Ebifaananyi: Kabaka Foundation UK Inaugural Dinner – 31 May 2025