
Omukulembeze wa Kabaka mu UK ne Ireland, Oweek. Ssaalongo Geoffrey, asibula abaddusi ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omulundi ogwa 69 nga April 7, 2024
Emisinde gy’Amazalibwa ga Kabaka 2025 giweze omulundi ogwa 12 bukyanga gitandikibwawo mu 2014. Omwaka guno, emisinde gino giweereddwayo mu kulwanyisa SIRIIMU (HIV/AIDS) era gyakubeerawo ku:
- 📅 Lwamukaaga, 12th Apuli 2025
- ⏰ Ssaawa 10:00 ez’oku makya (Obudde bwa Bungereza)
- 📍 Paaka ya Crystal Palace, SE20 8DS
- 🎟️ Kit egulwa: £12.00 GBP
Enkambi y’abasawo (Medical Camp) nayo egenda kubeerawo mu kifo kino.
Omukolo omukulu gugenda kubeera mu Lubiri e Mmengo, naye emisinde emitonotono gyakubeerawo okwetooloola Buganda ne mu Diaspora eri abo abatasobola kwetaba mu mukolo omukulu.
Omwaka guno, emisinde gyi jja kuba gyawulo nnyo kubanga tugenda kukuuza amazalibwa nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuweza emyaka 70 nga 12th Apuli 2025.

Abaddusi nga baduka emisinde nga b’amaze okubasibula mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omulundi ogwa 69 mu UK
Ebifo eby’okufunilamu Kit
- 📍 Manchester – 07786527807
- 📍 Scotland – 07508015239
- 📍 Abalala: Sikaaninga QR code okusobola okufuna kit yo ku kifo.
🎉 Kaakati, kits zili kumpi naawe! Funa eyiyo nga bukyali. TOLINDA!
Funa T-shirt yo eya Emisinde gy’Amazalibwa ga Kabaka
- 👕 Funa T-shirt yokka – Nyiga Wano
- 📦 Nga T-shirt eliko ne Postage – Nyiga Wano
Si Misinde Gyokka – Naye Ekisinde ky’Okukyuusa Obulamu
Emisinde gy’Amazalibwa ga Kabaka si mukisa gw’okudduka kyokka—kijjukiza ekigatta abantu okuwagira ensonga ezikwata ku kukyusa obulamu bw’abantu mu Buganda n’ensalo.
🏃🏾♂️🏃🏾♀️ Twegatteko mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 70 nga tuwagira okulwanyisa SIRIIMU! 🎉
🔹 Bw’oba tolina kit yo, gifuneyo kaakano! Tolinda. 😊