Ekyeggulo kya Buganda buli mwaka mukisa eri Abaganda mu Bungereza, Bannayuganda okutwaliza awamu ne mikwano gyabwe okukwatagana, okukolagana, n'okusomesa omulembe omuto ku byafaayo byaffe ate mu kiseera kye kimu ne bateesa ku ngeri ezigenda okukulaakulanya ekitundu kyaffe ne Buganda.
Ku kijjulo, tugabula emmere ya mitendera essatu ( y’e Uganda), okugabana amawulire, eby’amasanyu mu ngeri y’ekiganda nga amazinna ne disiko ey’ekinnansi n’omukisa gw’okukolagana n'okwatagana nebanaffe.
Abakulu £50 (Nga 31/10/2023 terunayitawo)
£60 (Okuva nga 01/11/2023)
Abato: £30 (Abatasussa 16)
OKUGULA TIKITI:
A/C Name: Buganda Uk
A/C No. 18918263 | SC: 60-11-14
Kozesa erinnya lyo nga reference