donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Eky’eggulo Kya Buganda (UK) 2023

Eky’eggulo Kya Buganda (UK) 2023
Image

Abagenyi Ku kyegulo Kya Buganda 2023

Ku Lwomukaaga nga 25 Museenene 2023 abantu ba Ssaabasajja abaasusse mu bikumi ebina (400) be beetabye mu mukolo gw’Eky’eggulo kya Buganda (Buganda Dinner) UK 2023 eky’omulundi ogw’omusanvu.  Omukolo guno gwabadde mu Coliseum Suite, mu Ilford ekiri mu Buvanjuba bwa London.

Okuteekateeka omukolo guno kwakulembeddwa olukiiko lw’Ebbendobendo lya Buvanjuba bwa London, Anglia ne Essex nga luyambibwako abakungu okuva ku lukiiko lw’Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland.

Image

Olukiiko lw'ebbendobendo lya East London, Aglia & Essex

Guno gwe gwabadde omulundi ogw’okubiri omukolo guno okutegekebwa wabweru w’amasekati ga (central) London ng’ekyaluubirirwa  kwe kutambuza omukolo guno mu mabendobendo g’essaza lino erya UK ne Ireland.

Okutongoza Olukiiko lw’Ebbendobendo lya Buvanjuba bwa London, Anglia ne Essex

Mu makkati g’omwezi gwa Muzigo (May) omwaka guno ogwa 2023, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda yasiima n’akyusa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu Buganda n’ebweru wa Buganda.  Mu nkyukakyuka zino, Ssaabasajja yasiima naakyusa Omumyuka w’Omubaka atwala ebbendobendo lya Buvanjuba bwa London, Anglia ne Essex nga kati litwalibwa Mukungu Godfrey Sekisonge.  Ku mukolo guno, Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland, Ow’ek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka (era naye nga yalondebwa mu Muzigo 2023) yatuuzizza olukiiko lwa Buvanjuba bwa London, Anglia ne Essex olukulemberwa Mukungu Sekisonge.

Abagenyi Abenjawulo

Image

Olukiiko lwo.Omubaka mu UK ne Ireland (n'abagenyi Ku mukolo)

Image

Omubaka eyawummula n'omubaka omugya

Omukolo gwabaddeko abagenyi ab’enjawulo omwabadde Ow’ek. Ronald Lutaaya – Omubaka wa Kabaka eyawummula; Daisy Byaruhanga eyakiikiridde Obukama bwa Bunyoro Kitara; Nnaalinya Elizabeth Nakabiri; Abalangira n’Abambejja abawangaalira mu Bungereza; abakiise b’Ababaka b’Abataka mu UK ne Ireland; Abaami ba Kabaka okuva mu mabendobendo agenjawulo (Manchester ne Midlands, North London, South ne West England ne Scotland) n’abakulu b’amadiini.

Ng’oggyeeko Bannayuganda, omukolo gwabaddeko n’abakulembeze b’eby’obufuzi mu kitundu kino ekya East London omwabadde: Sir Stephen Timms - MP wa East Ham,

Image

Sir Stephen Timms - MP East Ham

Kansala James Asser – Omumyuka wa Mayor wa Newham, Mw Unmesh Desai – Omubaka ku lukiiko lwa London Assembly, Kansala Lakmini Shah – atwala East Ham South Ward ne Mw. Martin Pinder - Ssaabawandiisi mu kitongole ky’eby’enjigiriza mu Newham.

Ate okuva e Uganda, Ssaalongo Faustin Lukonge Mukambwe - Mayor wa Mityana Municipal Council ne Mw. Kasozi Mulindwa omusirikale wa Paapa ne mukyalawe Grace Kasozi nabo teebalutumiddwa mwana.

Image

Ssaalongo Faustin Mukambwe -Wakatti ye Mayor w’e Mityana Municipal Council yabadde omu kubagenyi.

Okwogera kw’Omubaka

Mu kwogera kwe, Ow’ek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka – Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland yeebazizza bonna abaasobodde okujja ku mukolo guno n’abajjukiza obukulu bw’okukola omukolo guno mu mwezi guno ogwa Museenene. Mu mwezi guno Ssekabaka Edward Muteesa II gwe yazaalibwamu, mwe yawasiza, mwe yawaηangakusirizibwa ate mwe yakisiza omukono wano mu Bungereza – kale tukola omukolo guno olw’okujjukira Ssekabaka Muteesa II.

Image

Okwogera kwo, Ow’ek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka

Ow’ek. Kibuuka yeebazizza Ow’ek. Ronald Lutaaya – Omubaka wa Kabaka eyawummula wamu n’olukiiko lwe olw’emirimu emingi egyakolebwa mu kisanja ekyo, omwali okussa mu nkola enteekateeka y’amabendobendo mu ssaza lino erya UK ne Ireland, okutandikawo emisinde gya Kabaka (Kabaka’s Birthday Run) mu UK n’ebirala. Omubaka yayanjudde abakungu 21 abali ku lukiiko lwe n’abaami ba Kabaka ku nkiiko z’amabendobendo abaabaddewo.

Omubaka wa Kabaka yayanjudde omulamwa gw’omukolo era ogw’olukiiko lwe ogwa “Obumu n’Okwekulaakulanya”. Yategeezezza nti olukiiko lwe lujja kuteeka essira ku bino wammanga:

Ensonga ezisoomooza abaana baffe naddala abazaaliddwa wano mu UK ne Ireland omuli emisango gy’okutemula abantu n’ebiso (knife crime).

Abavubuka abakulidde wano mu Bungereza - bano nga be bakulembeze baffe ab’enkya.

Abantu abakulu abaakosebwa ekirwadde kya Lumiimamawuggwe (Covid-19), abakosebwa ekiwubaalo (loneliness) olw’okubeera obw’omu mu mayumba.

Okunoonya n’okukwasaganya abantu baffe abalina obukugu mu mirimu egy’enjawulo.

Ow’ek. Kibuuka era yayanjudde pulojekiti bbiri olukiiko lwe ze lugenda okutandika okusobola okutumbula embeera z’abantu ba Ssaabasajja abawangaalira mu UK ne Ireland: Buganda Bereavement Fund - ejja okuyambako mu kuzzaayo abantu baffe abafiira wano ku butaka ne Buganda UK Twezimbe – eno ya kusiga nsimbi wano mu Bungereza.

Omubaka yakubirizza abantu ba Kabaka okukozesa emikutu emitongole okufuna amawulire amatuufu agakwata ku Buganda omuli emitimbagano gya www.gambuuze.ug ne www.bugandauk.com n’omukutu gwa Whatsapp – UK Buganda Amasunsule.

Image

Omubaka yagabula cake

Obubaka bwa Ow’ek. Joseph Kawuki

Mu bubaka bwe obwasomeddwa eyabadde kalabalaaba w’omukolo – Mukungu Rev’d Enock Kiyaga, Ow’ek. Joseph Kawuki – Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka, n’Ensonga za Buganda Ebweru, yaweerezza obubaka obw’okwetonda olwa ye ne Katikkiro C P Mayiga obutasobola kujja ku mukolo guno. Owek. Kawuki yasabye abantu okuwagira emirimu gy’olukiiko lw’Omubaka wamu n’enteekateeka z’Obwakabaka olukiiko ze lunaayanjula. Yeebazizza Ow’ek. Lutaaya – Omubaka eyawummula -n’Abakungu abawummula olw’emirimu gye baakola mu kisanja kyabwe.

Owek. Kawuki yamalirizza ng’ajjukiza abantu ba Kabaka abawangaalira mu masaza g’ebweru ebibakakatako bino:

Okukiika embuga mu nkola ya Luwalolwaffe.

Okudduukirira pulojekiti y’okusima enzizi mu bitundu bya Buganda ebitawaana n’amazzi.

‘One Million Project’ – enteekateeka eneesobozesa abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru okusigira awamu ensimbi mu mawanga gye bawangaalira n’ekigendererwa eky’okwekulaakulanyiza awamu, okunyweza Obumu, n’okusaasaanya ekitiibwa kya Buganda.

Okusanyusa Abagenyi

Abagenyi baasanyusiddwa DJ Shady n’ekibiina kya African Cultural Development (ACD Arts) abakubi b’ebivuga eby’ekinnansi wamu n’okubiibya amazina ag'ekinnansi.

Image

Ekibiina kya ACD Arts nga kisanyusa abagenyi abazze ku kyegulo.

Eky’eggulo kya Buganda (UK) 2024

Image

Muk. Sekisonge akwasa Muk Kiyaga bbendera ya Buganda okulaga nti eky'egulo kya Buganda UK ekya 2024 kya kubeera mu Birmingham ( Bendobendo Manchester)

Omubaka yamalirizza okwogera kwe n’okulangirira nti omukolo gw’Eky’eggulo kya Buganda ogw’omulundi ogw’omunaana gujja kubeera Birmingham mu mwezi gwa Museenene 2024.

Mukungu Sekisonge – Omumyuka atwala ebbendondobendo lya Buvanjuba bwa London, Anglia ne Essex yakwasizza Mukungu Revd Enock Kiyaga - atwala ebbendobendo lya Manchester ne Midlands bendera ya Buganda ng’akabonero akalaga nti amukwasizza omumuli ogw’okutegeka Eky’eggulo kya Buganda (UK) 2024 mu kibuga Birmingham ekiri mu bbendobendo lye Manchester ne Midlands.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK