
Omumyuka wa Katikkiro Asooka era minisita avunanyizibwa ku Nzirukanya y’Emirimu, Tekinologiya n’Obuyiiya — Oweekitiibwa Prof. Twaha Kigongo Kaawaase akkubiriza abantu ba Ssaabassajja abawangalira e Bungereza bulijjo banyikirire ensonga y’okwekulaakulanyiza awamu nga begatta okusiga ensimbi mu Bungereza songa ne mu Uganda gyebasibuka, nayo bateekayo enkulaakulana eza ssekinoomu ate n’ezawamu.
Oweek. Kaawaase asinzidde ku kijjulo kya Buganda (Buganda Dinner UK 2025) ekibeerawo buli mwaka, nga ku mulundi guno kyabadde kya nnaku ssatu era ng’etikko yabadde ku Vermillion Banqueting Hall e Manchester ku Lwomukaaga oluwedde era nga kyetaabyeko abantu abassuka mu 400. Ekijjulo kino kyatandika n’akasiki ku Ascension Church Hall ku Lwokutaano.
Oweek. Kaawaase, eyabadde omugenyi omukulu, yakuutidde abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu Bungereza ne UK okunyweza eby’obuwangwa baleme kubulira mu bulala obw’eno gyebawangalira.
Ate ye Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland, Oweek. Geoffrey Kibuuka, yayiseyise mu bituukiddwako omwaka oguwedde omuli okutuuza Ttabamiruka wa Bulaaya eyasokera ddala (The 1st Buganda Bumu European Convention – BBECCO) eyali mu North London omwaka oguwedde, okutandikawo Buganda Bereavement Fund (BBF) okuyamba mu kusiibula abantu ba Ssaabasajja ababeera batugenzeko, nga kati kiweza bannakibiina abasukka mu 1,200. BBF lweyatongozebwa, esobodde okubuudabuda family 4 za banakibiina abatugeezo, nga buli emu eweebwa £9,000 ezisondebwa Bbanakibiina.

Ebirala ebituukiddwako mulimu okutuuza abaami ab’emiruka mu Bbendobbendo lya South ne West of England (SWEB), okudduka emisinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka nga gyetabwamu abantu abaasukka mu 500, okutongoza ekitongole ekya Kabaka Foundation mu Bungereza, okutegeka Ekisaakaate kya Nnabagereka, okutandikawo Food Bank eyamba ku bantu ba Ssaabasajja ku mmere n’ebikozesebwa n’ebirala.
Omubaka yebazizza omumyuka n’abaami ba Bbendobbendo erya North of England ne Midlands (Manchester) erikulemberwa Omumyuka Rev. Enock Kiyaga Mayanja abaakulembedde mu kuteekateeka ekijjulo kino.
Omukungu Kiyaga Mayanja yayiseyise mu byafaayo by’eBbendobendo lino eryatandikira mu kibuga Manchester, wabula neligaziwa nga kati litwaliramu ebibuga Leeds, Liverpool, Sheffield, Derby, Coventry, Birmingham, Leicester, Loughborough wamu n’ebibuga ebirinanyewo.
Abateesiteesi bakwasizza banaabwe ab’eBbendobendo lya South and West England (SWEB) bbendera ey’okutegeka ekijjulo kya Buganda ekiddako.

Abalala ababadde ku mukolo mulimu Muky. Marion Otengo eyakikiridde Ekitebe kya Uganda mu UK, Omukungu Janet Nabatta Mukiibi – Omumyuka wa South & West England (SWEB), Omukungu Godfrey Sekisonge – Omumyuka wa East London ne Essex, Omukungu Rebecca Lubega-Bukulu – Mubeezi atwala eBbendobendo lya Scotland, abakungu ku lukiiko lw’Omubaka n’abaami ba Kabaka mitendera ej’enjawulo mu UK ne Ireland, Ssenkulu wa Kabaka Foundation Mwami Henry Mutumba – Akulira Kabaka Foundation mu Bungereza, Hon. Ssempala Kigozi Emmanuel Ssajjalyabeene – eyaliko Omukiise wa Makindye Ssabagabo mu palamenti, abakulembeze b’enzikkiriza Sheikh Kalantani Yiga Butanaziba – Amir wa Uganda Muslim Community in the UK, Sheikh Abdukadir Kawooya – Omumyuka wa Amir wa Uganda Muslim Community in the UK, Fr. Gerald Balinnya – Uganda Martyrs Catholic Community in the UK, Rev. John Alex Muyita – Musumba ow’Okusinza mu Luganda e Manchester, Revd. Sam Bisaso Sekitoleko n’omukyala – Musumba Okusinza mu Luganda e Manchester, Omusumba Blessious Kalemeera Mutebi – Seventh-day Adventist Church, Omulangira Herbert n’omuzaana Solomey Kateregga, Nalinya Elizabeth Nakabiri Ssengaaga, Omulangira GW Mawanda Jjuuko n’omukyala, Omumbejja Esther Nakimbugwe, Omumbejja Irene Lubega n’abalala.
Ssaabassajja Kabaka Awangaale